Amawulire

Agambibwa okkulira akabinja ka bamafia abatambuza ebiragalalagala mu nsi yonna asangiddwa n'ebyokulwanyisa

AMAGYE ne poliisi bikutte omugagga w’omu Kampala gwe basanze n’ebyokulwanyisa eby’omulembe okuli emmundu n’amasasi ebyaludde okulabibwa 

Mugisha Keith King, Ikemefuna Testimony Udo (ku kkono) ne Ikemefuna Annoinying (ku ddyo).
By: Kizito Musoke, Journalist @New Vision

AMAGYE ne poliisi bikutte omugagga w’omu Kampala gwe basanze n’ebyokulwanyisa eby’omulembe okuli emmundu n’amasasi ebyaludde okulabibwa.

Keith King Mugisha, omugagga w’e Nsasa Cell mu Munisipaal  ye Kira mu disitulikiti y’e Wakiso wabula nga nzaalwa y'e Kisoro y’akwatiddwa ne bannansi ba Nigeria babiri okuli; Testimony Udo Ikemefuna ne Anointing Ikemefuna.
Omwogezi wa minisitule y’ensonga z’omunda, Simon Peter Mundeyi yagambye nti okukwata abasatu bano, baasoose kufun mawulire ageesigika nga galaga nti beenyigira mu kukusa ebiragalalagala mu nsi ez’enjawulo.
Mugisha agambibwa okutambulirwako byonna, musajja Mufumbira enzaalwa y’e Gasiza, mu ggombolola y’e Nyakabande mu disitulikiti y’e Kisoro. Wadde ng’alina kkampuni ya Keith King Group of Companies gye yawandiisa, kyokka ekoma mu biwandiiko temanyiddwa by’ekola. Mundeyi yagambye nti Mugisha mumenyi w’amateeka wa mutawaana eyakwatibwako mu 2010 ng’ali ku kisaawe ky’ennyonyi
ekya Jomo Kenyatta International Airport e Nairobi n’enjaga eyali evudde e Brazil. Yasibwa emyaka 12 e Kenya era akyali ku lukalala lw’abantu ab’omutawaana abanoonyezebwa mu nsi yonna.
Mugisha alina paasipooti ya Uganda n’ebiwandiiko ebirala ebiraga nti munnansi  w’amawanga okuli; Seychelles, Kingdom of Eswatini, Belgium, Bungereza ne Brazil awamu ne densite z’amawanga ga Kenya ne Nigeria. Alina n’ebbaluwa enjingirire eziraga nti  mukozi mu ofiisi ya Pulezidenti.
Omukwate abadde amanyiddwa okuvuga emmotoka ez’ebbeeyi nga Mercedes Benz ne Toyota Land Cruiser gy’ateekako obugombe mu bukyamu, n’alaga ebyambalo by’amagye era ng’olumu yeeyita mukungu mu ofiisi ya Pulezidenti oba omukungu w’amagye era nga tewali wa byakwerinda amukwatako.
Okumanya nga Mugisha abadde yamira ppini, n’omukuumi akuuma ku geeti y’amaka ge, abadde yamuwa ebyambalo ebyefanaany- Bakutte omugagga n’ebyokulwanyisa
ebikwambwe iriza eby’amagye ng’olabira ddala omuserikale ajjudde.
Olumu abadde yeeyita Ambasada era nga ku maka ge yateerako ddala akapande akasoma nti maka ga Ambasada (Ambassador’s Residence).
Okumanya nga Mugisha tasoboka, ne mukyala we Ikemefuna Winner Chekwubechukwu nga munnansi we Nigeria yamufunira densite eraga nti Munnayuganda ng’eri mu mannya ga Mugisha Winner Chekwubechukwu. Mu kiseera kino yaddukira Brazil.
BAMUSANZE N’EBYOKULWANYISA
BYA BATAALIYONIMundeyi yagambye nti baayazizza amaka ga Mugisha ne basangayo ebyokulwanyisa ebiyitirivu okwabadde emmundu ennene, pisito, bookisi z’amasasi ng’agamu tegaliimu ekiraga nti gandiba nga gaakozesebwa.
Yabadde n’ebyambalo by’amagye okuli engatto, helmet, jaketi, ebyambalo ebitayitamu masasi, essimu ya satellite, n’ebyuma by’empuliziganya ebirala bingi. Obungi bw’ebyokulwanyisa byewuunyisizza abeebyokwerinda ne beewuunya omuntu omu gy’ayinza okuba n’ebintu kumpi bya bataaliyoni nnamba.
Awaka yabadde ne paasipooti z’amawanga ag’enjawulo ne densite z’amawanga ag’enjawulo, empapula enjingirire eza maka g’Obwapulezidenti n’ebiwandiiko ebirala ebya kkampuni ezitali zimu naye ng’emirimu gye zikola tegirabika mu bantu.
Omuyiggo ku bantu bonna abali mu kabinja k’abantu abakukusa ebiragala n’okwenyigira mu bufere obw’enjawulo gukyagendab mu maaso, kuba waliwo abalala bangi be bayigga abatannaba kukwatibwa.
Minisitule y’ensonga z’omunda yakakasizza nga bw’etejja kuttira ku liiso muntu yenna akukusa ebiragalalagala awamu n’abakozesa ebyokulwanyisa nga tebalina lukusa. Bannayuganda baasabiddwa okuloopa omuntu yenna gwe balaba nga yeefudde ky’atali
naddala abantu ba bulijjo abavuga emmotoka eziriko obugombe oba ebyambalo ebyefanaanyiriza  eby’ekijaasi.
Singa omuntu abeerako b’alabye  abakozesa ebiragalalagala, asaanye okukuba ku nnamba ezitali za kusasulira oba okutegeeza poliisi emuli okumpi.
Mundeyi, bannansi ba Nigeria n’ebyokulwanyisa byabwe byalagiddwa eri bannamawulire mu  lukiiko olwatudde ku kitebe kya minisitule y’ensonga z’omunda ku
Old Port Bell Road mu Kampala. Waliwo ebintu ebyasangiddwa mu ccupa  ebyefanaanyiriza omubisi ebyalemye abeebyokwerinda okutegeera bye baagambye nti bagenda kusooka kubitwala mu materekero ga Gavumenti byekebejjebwe. Kyokka Mugisha yeecwacwanye n’ava mu mbeera n’abuuza abaserikale lwaki bwe baalaze ebyokulwanyisa bye, tebaayogedde ku layisinsi ezimukkiriza okuba nabyo. Ebyokunya bye batategeera yasabye babimuwebinywe bamanye nti tebirina buzibu ne bagaana. Mundeyi yeebazizza ebitongole by’ebyokwerinda byonna olw’omulimu gwe bakoze n’asuubiza nga bwe bajja okusigala nga bakuuma ensalo z’eggwanga n’ebitundu bireme kubeeramu bumenyi bw’amateeka. akuuma ku geeti y’amaka ge, abadde yamuwa ebyambalo ebyefanaany- Bakutte omugagga n’ebyokulwanyisa ebikwambwe  iriza eby’amagye ng’olabira ddala omuserikale ajjudde. Olumu abadde yeeyita Ambasada
 era nga ku maka ge yateerako ddala akapande akasoma nti maka ga Ambasada (Ambassador’s Residence). Okumanya nga Mugisha tasoboka, ne mukyala we Ikemefuna Winner Chekwubechukwu nga munnansi we Nigeria yamufunira  densite eraga nti Munnayuganda ng’eri mu mannya ga Mugisha Winner Chekwubechukwu. Mu kiseera kino yaddukira Brazil.

Mundeyi ng'alaga eby'okulwanyisa byebaggye ewa Musgisha

Mundeyi ng'alaga eby'okulwanyisa byebaggye ewa Musgisha


BAMUSANZE N’EBYOKULWANYISA BYA BATAALIYONI
Mundeyi yagambye nti baayazizza amaka ga Mugisha ne basangayo ebyokulwanyisa ebiyitirivu okwabadde emmundu ennene, pisito, bookisi z’amasasi ng’agamu tegaliimu ekiraga nti gandiba nga gaakozesebwa.
Yabadde n’ebyambalo by’amagye okuli engatto, helmet,  jaketi, ebyambalo ebitayitamu masasi, essimu ya satellite, n’ebyuma by’empuliziganya ebirala bingi. Obungi bw’ebyokulwanyisa byewuunyisizza abeebyokwerinda ne beewuunya omuntu omu gy’ayinza okuba n’ebintu kumpi bya bataaliyoni nnamba. Awaka yabadde ne paasipooti
z’amawanga ag’enjawulo ne densite z’amawanga ag’enjawulo,empapula enjingirire eza  maka g’Obwapulezidenti n’ebiwandiiko ebirala ebya kkampuni ezitali zimu naye ng’emirimu gye zikola tegirabika mu bantu.
Omuyiggo ku bantu bonna abali mu kabinja k’abantu abakukusa ebiragala n’okwenyigira mu bufere obw’enjawulo gukyagenda mu maaso, kuba waliwo abalala bangi be bayigga abatannaba kukwatibwa.
Minisitule y’ensonga z’omunda yakakasizza nga bw’etejja kuttira ku liiso muntu yenna akukusa ebiragalalagala awamu n’abakozesa ebyokulwanyisa nga tebalina lukusa. Bannayuganda baasabiddwa okuloopa omuntu yennagwe balaba nga yeefudde ky’atali
 naddala abantu ba bulijjo abavuga emmotoka eziriko obugombe oba ebyambalo ebyefanaanyiriza eby’ekijaasi.
Singa omuntu abeerako b’alabye abakozesa ebiragalalagala, asaanye okukuba ku nnamba ezitali za kusasulira oba okutegeeza poliisi emuli okumpi.
Mundeyi, bannansi ba Nigeria n’ebyokulwanyisa byabwe byalagiddwa eri bannamawulire mu lukiiko olwatudde ku kitebe kya minisitule y’ensonga z’omunda ku
Old Port Bell Road mu Kampala.
Waliwo ebintu ebyasangiddwa mu ccupa ebyefanaanyiriza omubisi ebyalemye abeebyokwerinda okutegeera bye baagambye nti bagenda kusooka kubitwala mum materekero ga Gavumenti byekebejjebwe.
Kyokka Mugisha yeecwacwanye n’ava mu mbeera n’abuuza abaserikale lwaki bwe  baalaze ebyokulwanyisa bye, tebaayogedde ku layisinsi ezimukkiriza okuba nabyo. Ebyokunya bye batategeera yasabye babimuwe abinywe bamanye nti tebirina buzibu ne bagaana.
Mundeyi yeebazizza ebitongole by’ebyokwerinda byonna olw’omulimu gwe bakoze n’asuubiza nga bwe bajja okusigala nga bakuuma ensalo z’eggwanga n’ebitundu bireme kubeeramu bumenyi bw’amateeka
Tags: