Amawulire

Abayizi abasoba mu 300 batikkiddwa ne babakubiriza okwetandikirawo emirimu

OMUSUMBA w’e Soroti,Joseph Eciru Oliach akuutidde abavubuka ababangulwa mu matendekero agenjawulo okufuba okwetandikirawo emirimu okusinga okuginoonya.

Abatikkiddwa nga bajaganya
By: Denis Kizito, Journalist @New Vision

OMUSUMBA w’e Soroti,Joseph Eciru Oliach akuutidde abavubuka ababangulwa mu matendekero agenjawulo okufuba okwetandikirawo emirimu okusinga okuginoonya.

Okwogera bino yabadde akulembeddemu Mmisa ku tendekero lya Uganda Catholic Management And Training Insitute e Lubaga mwebatikkiridde abayizi abasoba mu 300 mu masomo agenjawulo.

Ono yategeezezza nti ensangi zino abavubuka bangi abayise mu matendekero agenjawulo naye tebalina mirimu olw’ebbula lyaggyo bw’atyo n’abasaba okukozesa obukodyo bwebaba bafunye okubukozesa beetandikirewo emirimu emitonotono.

‘’Nsaba okubategeeza nti mu buli kimu kyemukola mulina okukulembeza katonda abayamba okuyita mu mbeera zonna naddala singa muba mufunye okusoomoozebwa naddala mu bulamu buno bwe mugenda okutandika nga mumalirizza emisomo gyammwe eggwana lisobole okubaganyulwamu obulungi’’Omusumba Oliach bweyategeezezza.

Pulinsipo w’ettendekero lino,Maresiane Nnassuuna yategeezezza nti etendekero lino lyatandikawo mu mwaka gwa 1956 nti era baatikkidde omulundi gwabwe ogwe 17 era nga yatenderezza ababakwatiddeko okutuuka emyeka gino.

Omu ku bayizi abaatikkiddwa,Racheal Katusabe yasiimye katonda eyabasobozesezza okutuuka ku kkula lino.

Patrick Kamanywa,ng’ono ye yabadde omugenyi omukulu yasabye abaatikkiddwa okukola emikwano egibatwala mu maaso wamu n’obutanyooma mirimu gyebaba bafunye ng’erimu ku kkubo eriggya okubayamba okufuna mu byebasoomye.

Tags: