Aba Takisi bayisizza ebivvulu nga balindirira Pulezidenti Museveni eyabasuubizza okubaggyako ebipapula

BA ddereeva ne bakondakita ba takisi mu okwetoloola eggwanga lyonna baali mu kujaganya oluvannyuma lwa Pulezidenti Museveni okukkiriza okutunnula mu nsonga zaabwe ez’e bipapula poliisi byeyabakuba ku mulembe gwa Gen Kayihura kyokka nga n’e mmotoka ezimu zaali zikyali Japan.  

Sekindi ng'ali ne Pulezidenti Museveni wamu ne mukyala we
By Joseph Mutebi
Journalists @New Vision

BA ddereeva ne bakondakita ba takisi mu okwetoloola eggwanga lyonna baali mu kujaganya oluvannyuma lwa Pulezidenti Museveni okukkiriza okutunnula mu nsonga zaabwe ez’e bipapula poliisi byeyabakuba ku mulembe gwa Gen Kayihura kyokka nga n’e mmotoka ezimu zaali zikyali Japan.

 Ssentebe wa UTOF ekibiina ekikulembeera takisi mu ggwanga ku Ssande yasabye Pulezidenti Museveni nga bali ku kisaawe e Kololo okubeerera aba takisi ow’ekisa abasonyiwe ebipapula ebyabakubwa ng’aba poliisi y’ebiduuka abaali abafere nga benoonyeza byabwe kyokka ng’emisango gye babavunaana tegyaliyo.

Mu 2013 okutuuka mu 2016 , aba poliisi y’ebidduka baali baasalawo omuwendo gw’e bipapula bye balina okufulumya buli lunaku nga babikuba emmotoka wadde teziza musango era bwetwakizuula twatukkirira Gen. Kayihura ne Steven Kasiima eyali aduumira poliisi y’ebiduuka mu ggwanga ne tubalaaga ensobi ezali zikolebwa basajja baabwe ne bakizuula nti kituufu.

Sekindi ng'ali ne banne nga bakumba ku nguudo z'omu Kampala

Sekindi ng'ali ne banne nga bakumba ku nguudo z'omu Kampala

 “Kasiima yatugamba nti agenda kulagira aba poliisi y’ebiduuka okuyimiriza okukwata ebipapula bino era yakikola kyokka natuuwa amagezi tunoonye minisita w’ebyensimbi Matia Kasaija” Ssekindi bweyategezezza.

 Bino Ssekindi yabyogeredde mu offiisi ye ku Mmande bweyabadde ayisse olukiiko lwe olukulu lwaduukanya nalwo omulimu gwa takisi abaatabadde Kololo okubategezza ebyavuddeyo.

 Yayongeddeko nti banoonya Kasaija okumala emyaka ebbiri nga tetumulaba wabula bwebamufuna mu kifo ky’okubayamba okulagira URA ebisangule mu sisitiimu yalagira ne babizaamu era ne mmotoka ezimu banannyini zo bali bamaze okuzitunda okuziguza abalala kyokka ne beesanga nga baabizizam

Twaddamu ne tuwandikira kamisona genero wa URA nga June/20/2023 nga tumutegeza ensobi ezaali mu bipapula ebyatukubwa mu bukyamu nga tumusaba akkirize babisangulemu kyokka tewali kyakolebwawo n’okutuusa kati

Kyokka mumwaka gwe nnyini ekitongole kya poliisi y’ebiduuka mwalimu abaserikale abajja nga kuba ddereeva baffe ssente nti bagenda kusangulamu ebipapulae byo  kyokka nga tebamanyi nti sisitiimu ekwatagaana ne URA bagenda okumaliriza nga baababbye bubbiri era abamu bakama baabwe baabagoba mu bifo ebyo.

Sekindi ng'akumba ku nguudo z'omu Kampala ne banne

Sekindi ng'akumba ku nguudo z'omu Kampala ne banne

                                TUSALAWO OKUNOONYA PULEZIDENTI:

Sekindi yategezezza nti  batandika okunoonya Pulezidenti okulaba nga ensonga eno atuyamba agiyingiremu nga batukuba ebikono okutuusa ku Ssande  lwe twamusisinkanye e Kololo ne tumusaba atukoleere ekisa atuuwe ekirabo nga kyeyawa abasuubuzi ku nkola ya EFRIS naffe atusonyiwe tudde ku zeero.

                “Osanga mmotoka nga yabukadde 15, kyokka nga erina ebipapula bya bukadde mwenda ekitegezza nti nannyini yo alina kugitunda alyoke asasule omusolo” Ssekindi bweyategezezza.

                Yagambye nti basembayo okulaba omuwendo gwa ssente URA zibanja aba takisi bonna mu ggwanga mu mwaka gwa 2024, nga tubangibwa obuwumbi bu ttaano n’e kitundu kati mu kiseera kino nsubira nti mmotoka zaffe zonna bazibanja obuwumbi nga mukaaga obw’omusolo gwa EPS nga kino kitono nnyo ku Pulezidenti asobola okutusonyiwa ne tutandiika bupya era tulinddiridde Olwokuna wiiki eno  okulaba kyanatuddamu