Musa Lumumba akulira abasawo bano bwabadde ayogerako eri bannamawulre mu Kampala olwaleero ategeezzeza nti bawadde gavumenti enaku 3 zokka ekole kunsonga zaabwe singa eremererwa bakweyongerayo n’akediimo.
" Mu kiseera kino tugenda kusigala nga tugenda mu malwaliro naye nga tujjanjaba abo bokka abalwadde abali obubi ennyo abasigadde tetugenda kubakwatako," Lumumba bw'akalambidde.
Blessed Kitentera akulira abasawo abatabuzi b’eddagala abali mu kugezesebwa atulise n'akaaba bw'abadde ayogerako eri bannamawulire.
Ono ategeezeza nti basanga okusomoozebwa kwamaanyi olumu ne babulwa n’ekyokulya olwa ssente zaabwe ez’akasiimo obutasasulibwanga mu budde so nga ne bwe bawandiika amabaluwa agawerako eri bekikwatako tebafuna kuyambibwa .

Abasawo nga bawanise ebipande okulaga okwemulugunya
Irene Mildred Neumbe akulira abasawo abazaalisa abali mu kugezesebwa agasseeko nti ekirala ekibaluma kye ky’abakungu mu gavumenti okulemererwa okuteekesa mu nkola ekiragiro kya Pulezidenti Museveni eky’okwongeza ssente zaabwe ez’akasiimo .
Okusinziira ku kiragiro kino abasawo abatandikirwako bateekedwa okusasulwa ssente kimu kyakubiri kw'ezo ezisasulwa abasawo abaakuguka edda nga mukino abasawo abali mu kugezesebwa bateekedwa okusasulwa akasiimo akali wakati w’obukadde 2 n’ekitundu n’obukadde 2 mw’emitwalo 20 buli mwezi .
Dr. Samuel Oledo akulira abasawo mu kibiina mwe beegattira ekya Uganda Medical Association agambye nti abasawo bano bakolera mu kusomoozebwa kwamaanyi nnyo naddala mu biseera bino eby’okulwanyisa ekirwadde kya Ebola era abamu ku bannaabwe bafudde .
Asabye gavumenti okwongera okuteeka ebikozesebwa mu malwaliro , okusasula nga abasawo mu budde saako n'okwongera okuwandiisa abasawo ku mulimu olw'ensonga nti bangi ku basawo baasoma naye tebalina mirimu kyokka ate abali mu malwaliro batono nnyo bw'ogeraageranya n'omuwendo gw'abalwadde be balina okujjanjaba .