Abavubuka 21 abagambibwa okukola eggaali ne banyaga n'okukuba abantu nga bambadde emijoozi gya kyenvu, bakwatiddwa poliisi.
Obunyazi buno, bwabaddewo eggulo okumpi ne National Theatre ne UBC mu Kampala, mu kiseera president bwe yabadde agenze e Kyadondo okujjaayo empapula z'okwewandiisa.
Abantu bano ebeefudde nga abawagizi ba NRM, nga mwabaddemu n'abawala babiri, baakubye abantu abaabadde batambuza ebigere, abaabadde ku pikipiki, mu mmotoka ne babanyagako ebintu wakati mu kubatusaako ebisago.
Babadde bambadde ng'abwagizi b'ekibiina kya NRM ne bagenda nga babba n'okukuba era poliisi nga yeyambisa kamera enkessi egenze ebakwata.
Omwogezi wa poliisi mu Kampala Patrick Onyango,avumiridde ebikolwa bino era n'ategeeza nti abamu bakuumirwa ku CPS Kampala abalala Wandegeya ng'omuyiggo gugenda mu maaso.