Ebyemizannyo

Abantu balabuddwa gyebagula ebintu nga tusembererea ennaku enkulu

NGA twetegekera ennaku enkulu, abantu balina okubeera abagendereza gyebatambulira, gyebakyakalira ne gyebagula ebintu. 

Bannayuganda nga bali ku line
By: Julius Kafuluma, Journalists @New Vision

NGA twetegekera ennaku enkulu, abantu balina okubeera abagendereza gyebatambulira, gyebakyakalira ne gyebagula ebintu. 

Ebiseera nga bino, bikulemberwa obubbi, ettemu, obubenje, n'omujjuzo mu bibuga. 

Abavuzi b'ebidduka, muvuge n'obwegendereza nga mumanya nti waliwo abantu abalala nabo abakozesa enguudo. 

Abakola emirimu egiyinza ennyo ssente, mwewale okutambula ne ssente enyingi nga temulina bukuumi, ate nga ne mu bifo wemukolera, wateekeddwa nawo okubaawo obukuumi.

Gula ebintu mu bifo ebituufu, kubanga bayinza okukusiba ebiyiseeko ennaku n'ebijingirire. 

Ebiseera bino, oluusi bibaamu okusaasaanya ebicupuli, n'olwekyo mwetegereze nnyo buli ssente ebeera ekuwereddwa. 

Bannayuganda

Bannayuganda

Twewale okubeera n'ebintu nga bizijjagadde awaka, gamba ng'emiti, ebimuli so nga n'amataala tugasuzeeko ekiro. 

Beera n'essimu ya muliraanwawo bwe kiba kisoboka, eya ssentebe LC 1 , defensi mu kitundu, O/C owomu kitundu n'abebyikwerinda abalala okusinziira ku poliisi. 

Tags: