ENKYUKAKYUKA Robert Kyagulanyi Ssentamu (Bobi Wine) ze yakoze mu bukulembeze bwa NUP mu Palamenti ziggyeeyo ebyama ku ngeri gy’addukanyamu ekibiina.
Mu nkyukakyuka zino, Bobi yaggyeewo Mathias Mpuuga ng’akulira oludda oluvuganya gavumenti n’amusikiza Joel Ssenyonyi. Ensonda mu NUP zaategeezezza nti enkyukakyuka zino n’ebintu ebirala bingi Bobi by’azze asalawo, waliwo abantu be yeebuuzaako era emirundi egisinga tava ku magezi ge baba bamuwadde.
Okunoonyereza Bukedde kw’akoze kuzudde abamu ku bantu Bobi b’atambulirako mu bulamu bwe ne mu ngeri ezimu ez’ebyobufuzi.
Ekisinga okumugatta n’abantu bano, gy’emyaka emingi gy’amaze nabo mu buzibu obungi okuva nga bato, omuli obumanyirivu, emyaka ne ssente ne bakula mu kwesigahhana okw’amaanyi okutuuka kati.
Bonna aboogerwako baalaba Bobi ng’atandika okuyimba, ng’akyali mwavu kyokka ate bonna agenze okutandika ebyobufuzi ng’ali nabo.
Wabula Bobi Wine si y’anaaba asoose okubeera n’abantu abatali nnyo mu byabufuzi nga basalawo ebintu ebikulu. Ebibiina ebirala nabyo birina enkiiko entongole okuviira ddala ku ntikko okutuuka ku mitendera egya wansi kwe biddukanyizibwa naye nga munda, mulimu abantu ab’enkizo ababisalirawo ne bwe baba si bannabyabufuzi.
Okunoonyereza Bukedde kw’akoze kulaga nti Pulezidenti wa NUP, Robert Kyagulanyi Ssentamu (Bobi Wine) alina enkola gy’ayita ‘Robadoba style’ kw’addukanyiza ekibiina era mu mbeera eyo alina abantu abatali ba byabufuzi abamuyambako okusalawo.
Ensonda mu NUP zaategeezezza nti n’okusuula Mathias Mpuuga ku kifo ky’akulira oludda oluvuganya n’asikizibwa Ssenyonyi, ensonga zaagenze okuleetebwa mu lukiiko olufuzi olwatudde ku kitebe kya NUP ku Kavule nga December 22, 2023 nga waliwo abantu abaasazeewo ekisembayo nti Mpuuga aveewo, Ssenyonyi akwatemu.
Abamanyi Bobi bagamba nti abantu abatera okumusalirawo bali 9 kyokka tekuli munnabyabufuzi:
1. Barbie Itungo Kyagulanyi
Mu bantu Kyagulanyi be yeesiga, Barbie ye gw’ayita ‘Maama Solo’ ye nnamba emu. Ebbanga ly’amulabidde okuva lwe yasooka okumulaba nga February 16, 2002 nga bazannya katemba, amwesiga nnyo. Batobye bonna mu bulungi ne mu bubi.
Bobi yeebuuza nnyo ku Barbie ate amuwuliriramu. Ebisinga okubagatta, Barbie mugezi amanyi n’okubala ebintu ate ayagala nnyo Bobi nga Bobi bw’amwagala. Baasomako bonna, n’okwagalana baali bazannya katemba. Besigahhana nnyo.
2. Ali Bukeni (Nubian Li)
Okuva omuyimbi Weatherman lwe yafa, Bobi yafuna Nubian Li gwe yazza mu kifo ky’omugenzi mu kibiina kya Fire Base Crew.
, Nubian Li amusalako n’amuyita lya Nubian era nga bw’omuwulira mu luyimba lwa ‘Abalungi balumya’ bw’amusalako n’agamba, ‘Sing Nubian.’
Kati Nubian yafuuka nga mulongo ne Bobi. Baalabagana mu 2004, okusinziira ku babamanyi n’amuyingiza mu Fire base mu 2005. Oluvannyuma baatandika okufulumya ennyimba bombi nga Adam ne Kaawa, Akwagala, Ghetto, Kiggwa Leero n’endala.
Ekyewuunyisa wadde Bobi baamulemesa okuddamu okuyimba mu bivvulu, kyokka ne Nubian naye yabivaako ng’alinga agamba nti ekituuka ku Bobi naye kiba kimutuuseeko butereevu. Jukira Bobi era yagamba nti Nubian ye yamuwa amagezi okwesimbawo ku Bwapulezidenti bwe yamulabamu obusobozi ng’afuuse omubaka wa Kyaddondo East mu 2017. Bobi Wine yamuwa n’ekifo ky’okubeera nga y’akulira bannabitone mu lukiiko lwa NUP era atuula ku lukiiko olwa waggulu olusembayo.
3. Edward Rodgers Sebuufu (Eddie Mutwe)
Ono y’akulira ebyokwerinda bya Bobi era bw’alabikako awantu mumanyirawo nti ne Bobi tali wala kuba abeera alina okusooka okutereeza embeera. Ono yamuwa n’obuvunaanyizibwa bw’okumukwata mu mutwe n’ekirevu anti y’amuwala enviiri.
Eddie azze asibwa olwa Bobi nga kumpi basibwa bombi nga bwe kyali mu Arua mu 2018 n’e Kalangala mu 2021 n’asimbibwa ne mu kkooti y’amagye n’aggulwako emisango egyenjawulo.
Kyokka Eddie bwe yava mu kkomera, we yali akomye we yatandikira n’addamu okutambula naye. Tomulaba okumwesiga ennyo naye kiva ne ku bbanga ly’amulabidde kuba baalabagana mu 1996 nga bakyali mu ssomero.
Ng’oggyeeko okusoma, mu budde Fire Base we yabeerera ey’amaanyi ng’evuganya ne Gagamel eya Bebe Cool ne Leone Island eya Jose Chameleone mu myaka gya 2001 okutuuka 2016, Mutwe era ye yasalanga Bobi enviiri z’ekirasita n’okuziyonja bwe yali tannazisalako ng’ayingidde ebyobufuzi.
Mutwe agamba omulimu gw’akola tasasulwa musaala naye yeenyumiririza nnyo mu Bobi kuba bingi by’amukoledde era nga ye muntu eyasooka okumulinnyisa ku nnyonyi era y’amufudde ow’ettuttumu.
Ne bw’obeera oyagala Bobi ng’akubuze, osobola okukubira Eddie Mutwe n’omufuna mangu.
4. Dan Magic
Dan Magic, ono mutabuzi wa myuziki era y’ateeka ebidongo mu nnyimba za Bobi Wine. Dan Magic si wadda nnyo mu bazze bakolera Bobi myuziki nga bw’olaba mukulu we, Eddy Yawe owa Dream studios oba kale Tonny Hauls, naye amwesiga bitya!
Oyo ne Nubian era mu kunoonya akalulu ka 2021 baafuuka kumpi bakanyama ate bannamawulire kubanga Nubian yatuulanga mu maaso ga Land Cruiser enjeru Bobi mwe yanoonyeza akalulu nga yaakwata kkamera ya ssimu mutasubwa era ng’ayomba n’abaserikale ate nga Dan Magic atuula ku mutto gwe gumu ne Bobi emabega.
Ojjukira Dan Magic lwe yakubwa n’ajja n’omusaayi mu kampeyini ng’akuuma Bobi?
Dan Magic ennaku zino yaakola ennyimba za Bobi okuli n’olwa Nalumansi. Amannya ge amatuufu ye Daniel Oyerwot.
5. Selector Davie
Ono mukoddomi wa Bobi kyokka era nga mutabuzi wa nnyimba. Si pulodyusa nga Dan Magic wabula ye DJ wa Bobi aludde naye. Alina oluganda ku Barbie kyokka ekisinga okubagatta, Selector tatya biduduma ate mugezi nga mwannyina.
6. Tonny Hauls
Ono naye mutabuzi wa nnyimba ng’amannya ge amatuufu ye Tonny Bikumbi, omwana enzaalwa ye Buseesa mu disitulikiti ye Bugweri. Emirundi mingi buli Bobi bw’abeera n’omulimu ogwetaaga obuyiiya ogw’amangu asindikayo musajja we ono. Ekirungi teyeemulisa era bw’amaliriza misoni tatunula mabega ng’atwalira mukama we lipooti.
7. Joel Ssenyonyi
Wadde ng’ono balabika ng’abataludde nnyo, naye amwesiga bizibu. Okuva Ssenyonyi lwe yalekulira omulimu gw’obwannamawulire n’afuuka omwogezi w’ekisinde kya People Power, enkolagana ye ne Bobi yanywera. Ekirungi ne Barbie amukooneramu era ewa Pulinsipo amwogerako birungi byereere.
Ssenyonyi okulondebwa ku kifo ky’akulira oludda oluvuganya abali ku lusegere lwa Bobi tebaakyewuunyizza kuba abadde muganzi nnyo eri abasinga abasalawo ku birina okukolebwa mu kibiina.
8. Lewis Rubongoya
Ye Ssaabawandiisi wa NUP era Bobi amwesiga nnyo era amagezi g’amuwa atera okugatwala. Bagamba nti emu ku nsonga lwaki Bobi amufiirako kiva ku mawulire g’azze amuwa ku bannaabwe abatera okukiika mu banene mu Gavumenti era oluvannyuma obujulizi ne buvaayo obw’enkukunala.
Omulimu Rubongoya gwe yakola mu kuwandiisa ekibiina mu kyama n’abanene mu Gavumenti nga tebategedde kyakakasa Bobi nga bw’alina omuntu omutuufu okukolagana naye.
9. Fred Nyanzi
Amanyiddwa nga Chairman Nyanzi ng’ono mukulu wa Bobi Wine. Y’akulembera okukunga abawagizi mu kibiina era misono zonna Bobi Wine z’akola azimutegeezaako. Ono gw’asinga okwesiga mu baganda be. Aba NUP bangi nabo bakimanyi era ewuwe bettanirayo nnyo n’okumutuusaako amawulire agafa ku bannaabwe ge baagala gatuuke ewa Bobi mu bwangu. Agambibwa okuba ng’akutula mangu ddiiru ku nsonga zonna ezirimu okuteekayo akabega.