Abamu ku basajja omusanvu abaakwatiddwa mu kutemula kaputeeni wa Sports Club Villa David Owori nga Aug 4, babagguddeko emisango emirala egy'obutemu n'okubbisa eryanyi.
Abantu 7 baatwaliddwa mu kkooti wiiki ewedde ne basindikibwa ku alimanda ng'okunoonyereza ku musango gw'okutta David Owor , kugenda mu maaso.
Omwogezi wa poliisi mu ggwanga, Kituuma Rusoke, agambye nti abantu bano okuli, David Ahumuza , Martin Lubega , Francis Ssegawa , ne Elvis Munguki, kigambibwa nti be bamu ku baalumba doctor Omucongo ne bamutusaako obulabe ne bamubbako essimu.
Agambye nti Ahumuza David ne Arafaati Magumba , poliisi ekizudde nga July 31, balina omusango gwe bazza , era nga nabo, babanoonyerezaako