Abantu babiri bakwatiddwa ku bigambibwa nti balina kye bamanyi ku kuttibwa kwa kaputeni wa Sports Club Villa, David Owor.
A bakwatiddwa kuliko Bashir Munyaneeza amanyiddwa nga Jimo ne Samuel Magoba era nga mu kiseera kino bakyabakunya okuzuula ekituufu.
Kigambibwa nti essimu eyabbibwa ku mugenzi bagisanze nabo wamu n'ebintu ebirala ebirowoozebwa okuba ebibbe.
Omwogezi wa poliisi mu ggwanga, Kituuma Rusoke, agambye nti omuyiggo gw'abalala gugenda mu maaso.
Owor, baamukuba bwe yali adda ewuwe ne bamuleka ng'azirise oluvannyuma n'afiira mu ddwaaliro lya Case mu Kampala.