ABANTU abalala 2 bakwatiddwa ku by'okutta kaputeeni wa Sports Club Villa David Owor .
Mu wiiki ewedde poliisi yasoose kukwata babiri mu kikwekweto mwe yazuulidde essimu y'omugenzi era nga bagenda mu maaso n'okubakunya.
Omwogezi wa poliisi mu ggwanga, Kituuma Rusoke, ategeezezza nti abantu abaakakwatibwa baweze bana era ne yeewera nga bwe bakyagenda mu maaso n'okuyigga bonna abaali mu lukwe , basimbibwe mu mbuga z'amateeka.
Owor yakubibwa ppeeva bwe yali adda awaka ekiro okumpi n'ewuwe e Makindye .