Bya Richard Kyanjo
ABANTU abalina akawuka akaleeta siriimu mu disitulikiti za greator Masaka n’emiriraano basanyukide enkola ya tekinologiya empya egunjiddwaawo mu malwariro ag’enjawulo gyebafunira eddagala olw’ebirungi by’ezze nabyo.
Mu nkola eno empya ebintu byonna ebikwata ku muntu alina akawuka n’ebyo ebimukungaanyizibwako buli lw’agenda mu ddwaaliro byakuterekebwanga nga beeyambisa tekinoligiya n’ebyuma bikalimagezi okuva ku kibaddewo ekyokweyambisanga empapula ne fayiro.
Bwe yabadde ku mukolo ogw’okutongoza enkola eno eyateekeddwaawo n’obuyambi okuva mu kitongole kyobwannakyewa ekirabirira n’okubudaabuda abantu abawangaala n’akawuka ekya Rakai Health Sciences Programe ogwayindide ku ddwaaliro lya Maddu Health Center IV mu disitulikiti y’e Ggomba, Scovia Nakalema omu ku bafunira obujjanjabi mu kifo kino yatendereza enkola eno nti egenda kubanguyiza nnyo obulamu.
Agamba nti obutafaananako n’omulundi guli bwe babade balina okutambula ne kaadi eziriko ebibakwatako ku luno omuntu alina kumanya nnamba ye yokka olwo n’agenda mu ddwaaliro n’afuna obuweereza bweyeetaaga ng’ate ne bwatuukayo tebakyamuyita linnya lye buli muntu ali wo n’amanya nga mu nkola eno bayita nnamba ye eri mu kompyuta ekigenda okuyamba okukuuma ebyama by’abalwadde.
Absolum Ssettuba akulira okusaasanya enkola eno agamba nti eteekeddwa mu malwaliro agasoba mu 100 mu disitulikiti ez’enjawulo eza Greator Masaka n’emiriraano nga balina essuubi nti yaakwongera okutumbula omutindo gw’obuweereza bwabwe.
Ono ayongerako nti ng’oggyeko okukuuma ebyama ebikwata ku mulwadde, enkola eno era yaakukendeeza obudde omuntu bw’abadde amala ku ddwaaliro ng’azze okufuna eddagala kuba ebyuma bino bigenda kuba bibagulizaako omusawo ku muntu eyasoose so si eyaakajja.
Dr. Fred Mugera akola ng’ akulira ebyobulamu mu disitulikiti y’e Ggomba asanyukide enkola eno wabula n’asaba abasawo okufuba bayige enkozesa ya kompyuta zino okusobola okufuna n’okuukuma amawulire amatuufu agaggyibwa ku balwadde.