Bya Johnbosco Mulyowa
Aboobuyinza mu kibuga Masaka nga bali wamu n’aba NEMA, bawadde abantu abalimira mu lutobazzi lw’e Kassooka mu Kimaanya – Kabonera n’okukubiramu bbulooka omwezi gumu gwokka nga baluvuddemu.
Abapoliisi baakulembeddwaamu omuduumizi wa poliisi e Masaka, Moses Nanoka ng'ali wamu n'akulira NEMA Masaka Henry Kibuuka abaagambye nti kino bakikoze okuyamba okutaasa obutonde bwensi obubadde butaataaganyizibwa.