Abatuuze ku byalo 3 basattira olwa NEMA okubalagira okwamuka olutobazzi

ABATUUZE ku byalo 3 okuli Buggu, Busaabala ne Kibiri A bali ku bunkenke olwa NEMA okuddamu okubaweereza ebiwandiiko balekewo ettaka lyabwe ng’ate bagambayali yabaleka ng’ensonga zikyali mu kkooti.

Ab’e Busaabala nga balaga obutali bumativu ku NEMA.
By Bukedde Omusunsuzi
Journalists @NewVision

ABATUUZE ku byalo 3 okuli Buggu, Busaabala ne Kibiri A bali ku bunkenke olwa NEMA okuddamu okubaweereza ebiwandiiko balekewo ettaka lyabwe ng’ate bagamba
yali yabaleka ng’ensonga zikyali mu kkooti.
Eby’okusenguka baali baabyesonyiwa oluvannyuma lwa NEMA okusooka okuyimiriza eby’okubamenya ensonga zimalirizibwe mu kkooti n’akakiiko ka NEMA okusooka
okubaako bye kamaliriza mu kunoonyereza kwako.
Ssentebe wa LC I Bbugu Cell, Paddy Kabuye yategeezezza nti mu kiseera kino mweraliikirivu n’abantu b’akulembera oluvannyuma  lw’okusindikibwa ebipapula ebibalaalika okusenguka essaawa yonna ng’ate n’ensonga zaabwe tezinnaba kusalwawo mu kkooti gye baajulira.
Mu kusooka baalambulaera abantu abamu ne bateekebwako obubonero nga bwe baali mu lutobazzi naye oluvannyuma lw’okugenda mu kkooti, ne NEMA ne basalawo okusooka
okubiyimiriza.
Munnamateeka waabwe, Yassin Ssentumbwe agamba akakiiko ka
NEMA akalamuzi kw’eno ensonga
kaatuula nga April 16, 2025 ne
kayimiriza eby’okumenya byonna
okutuusa ensonga lwe zirigonjoolwa. Wabula mu kiseera kino ate  kibeeraliikirizza okulaba ng’abantu be bamu bazzeemu okubawa ebiwandiiko ebibalagira okusenguka
n’agamba nti wandibaawo bannakigwanyizi abaagala okusengula abantu bano bakozeseewo bye baagala.
Agamba nti babadde tebasuubira kiwandiiko kyonna kibalagira kumenya oba okusenguka ng’ensonga zikyagenda mu maaso mu kkooti ejulirwamu n’eya ‘East Africa’. Ekiwandiiko NEMA kye yafulumizza kyoleka amayumba agalambiddwa  nga kuliko n’amannya g’abantu  abalina okusenguka, kiraga bano beesenza mu kitoogo kya Kaliddubi era ne bazimbamu ebizimbe mu bumenyi bw’amateeka nga n’okujulira kwe batwala mu kkooti tekusobola kukola wabula balina kusenguka.