Amawulire

Eby'okulekera Museveni ekisanja ekisembayo kye yasaba Muntu abigaanye!

ABANTU mu disitulikiti y'e Kyankwanzi basabye Rt. Major Gen. Mugisha Muntu ne banne abalala bwe beesimbye ku Pulezidenti Museveni bamulekere ekisanja kino kye yasabye ekisembayo Muntu n'abalayirira nti ye takyadda mabega.

Eby'okulekera Museveni ekisanja ekisembayo kye yasaba Muntu abigaanye!
By: James Magala, Journalists @New Vision

ABANTU mu disitulikiti y'e Kyankwanzi basabye Rt. Major Gen. Mugisha Muntu ne banne abalala bwe beesimbye ku Pulezidenti Museveni bamulekere ekisanja kino kye yasabye ekisembayo Muntu n'abalayirira nti ye takyadda mabega.

 

Maj.Gen.Mugisha Muntu,mu kusaggula akalulu mu e Kyankwanzi atalaaze ebitundu eby'enjawulo okubadde; Ntwetwe,Tawuni y'e Kyankwanzi, Bukwiri ne Butanabirwa, yakunze Banna Kyankwanzi okubeera abasaale mu kuwagira enkyukakyuka ey'emirembe.

 

Yagambye nti Bannayuganda obuzibu bwonna babuteeka ku Kyankwanzi awaatandikira ekiteeso ky'okuggya ekkomo ku bisanja by'Omukulembeze w'eggwanga mu mwaka gwa 2005.

 

Eno Muntu, ategeezezza abantu b'e Kyankwanzi nti bwe baba baagala enkyukakyuka ey'emirembe basaanye okumwegattako bamulonde ku bwapulezidenti basobole okuwummuza Pulezidenti Museveni nga bayita mu kalulu ka 2026.

 

Yasuubizza nti ye bw'akwata obuyinza waakuzzaawo ekkomo ku bisanja by'omukulembeze w'e Ggwanga.

 

Wabula mu Tawuni y'e Kyankwanzi,waliwo omukazi ayitibwa Peace Natwijuka,akutte akazindaalo n'akalira mu Maj.Gen.Mugisha Muntu,bwe yamusabye ye ne banne bwe beesimbye ku Pulezidenti Museveni okuddako ebbali bamuleke amaleko ekisanja kino ekisembayo kye yasabye atereeze ebitasobose mu myaka 40 gy'amaze mu Ntebe.

 

Natwijuka,ategeezezza Muntu nti nga Pulezidenti Museveni, bwe yasabye ekisanja ekisembayo bandibadde bamulekera emyaka gino etaano n'agikozesa okweteekateeka butya bw'adda ebbali e eggwanga alikwase omuntu omulala mu 2032.

 

Wabula mu kwanukula Natwijuka, Muntu amusekeredde n'amutegeeza nti eky'okulekera pulezidenti Museveni tekijja kusoboka n'akikkaatiriza nti akalulu ka Bannayuganda ke kalina okulamula ng'agamba nti si gwe mulundi ogusoose Pulezidenti Museveni okusaba ekisanja ekisembayo era nga wano yawagiddwa abamu ku bawagizi be era n'abasaba okubunyisa enjiri ey'enkyukakyuka.

 

Kyokka abantu b'e Kyankwanzi era baabulidde Muntu ebimu ku bizibu ebibanyigiriza omuli; Enguudo embi,ebbula ly'eddagala mu malwaliro, enguzi n'ebirala ne bamusaba nti bw'aba afuuse Pulezidenti abikoleko era wano Muntu abagumizza nti byonna ajja kubimala.

Tags:
Muntu
Kisanja
Museveni
Kuleka
Kusemba