Amawulire

Ab'e Mayuge bawanjagidde Museveni okubongera ku masomero kikendeeze ku bawala abafuna embuto

ABAKULEMBEZZE n’abatuuze mu byalo eby’enjawulo mu disitulikiti y’e Mayuge bawanjagidde pulezidenti Museveni okubongera ku masomero ne bategeeza nti okuba n’amatono kivuddeko omuwendo gw’abaana abawala abafuna embuto nga tebanneetuuka okweyongera.

Ab'e Mayuge bawanjagidde Museveni okubongera ku masomero kikendeeze ku bawala abafuna embuto
By: Edith Namayanja, Journalists @New Vision

ABAKULEMBEZZE n’abatuuze mu byalo eby’enjawulo mu disitulikiti y’e Mayuge bawanjagidde pulezidenti Museveni okubongera ku masomero ne bategeeza nti okuba n’amatono kivuddeko omuwendo gw’abaana abawala abafuna embuto nga tebanneetuuka okweyongera.

Mayuge y’emu ku zi disitulikiti ezisingamu abaana abawala abazaala nga tebanneetuuka era nga okusinziira ku kunoonyereza kw’ekitongole ekivunaanyizibwa ku bibalo mu ggwanga ekya UBOS okw’omwaka 2024, eno waliyo amaka agasoba mu 110,000 kyokka amalwaliro ga gavumenti gali asatu (3) gokka  ate nga buli muluka gulina essomero limu.

Summayah Kyakuwaire omuzito ku myaka 16 gyokka agambye nti beesanga mu nsonga z’omukwano ku myaka emito olw’abazadde baabwe okulemwa okusasula nnusu 2,000 eza fiizi ate nga n’okutindigga eng’endo empanvu okugenda ku masomero abamu kibakooya.

Nabweyune Lamula, amyuka ssentebe w’omuluka Mbogwe ategeezezza nti abaana abawala basendebwa n’obusente abavubuka abajja okulima ebikajjo nga balimbibwa na nnusu 500 zokka ezigula chapatti!

Nnaalongo Matanta, kkansala wa Mbogwe agambye nti abantu babanja enguudo ezitalimwa bulungi, omusaala gwa bakulembezze ba wansi ate nga bakuba kkampeyini kyokka nga bo ababaka basiiba babongeza omusaala .

Tags:
Kalulu
Mayuge
Pulezidenti Museveni