Abantu basatu abagambibwa okubeera ababbi, bakubiddwa amasasi agabattidde e Kasenge.Bibadde mu zzooni ya Kabojja A, mu muluka gw'e Kasenge mu Kyengera Town Council e Wakiso.
Kigambibwa nti abazigu babadde balina ebiso, ebyuma ebimenya amayumba, n'ebibundu ebijingirire wamu n'ebintu ebirala. Babiri ku bano, bafiiriddewo, omulala n'afa ng'atwalibwa mu ddwaaliro e Mulago.
Omu ku battiddwa, bamusanze n'ebiwandiiko ebijingirire okuli Uganda police warrant card nnamba 38468 okuli amannya ga Moses Byaruhanga ng'eraga nti wa ttulafiki ku ddaala lya sergeant nga yamuweebwa mu 2016.
Asangiddwa era n'endagamuntu mu mannya ga Moses Kachingwa. Omwogezi wa poliisi mu Kampala, Racheal Kawala, agambye nti emirambo gikuumirwa mu ggwanika e Mulago, ng'okubuuliriza bwe kugenda mu maaso.