EKITONGOLE ekikola ku byentambula bye nnyonyi mu gwanga ekimanyibwa nga Uganda Civil Aviation Authority etandiisewo enteekateeka egenda okuyamba okukuuma ebikwata ku bavuzi be nnyonyi , ebikwata ku nnyonyi , embeera y'obudde n ebintu ebirala nga enteekateeka eno etumibwa System wide information Management (SWIM)
Amyuuka akulira ekisawe kye nnyonyi e Ntebe Olive Birungi Lumonya nga yabadde omugenyi omukulu asinzide mu kuggulawo olukung'aana lwa bamu ku bakungu abakola ku bye nnyonyi okuva mu mawanga 15 n'agamba nti enteekateeka eno nungi nnyo kubanga yakuyamba nnyo abasabaze okwanguyirwa okumanya ebintu ebintu bingi ebikwata ku nnyonyi nabakolako .

Richard Ruhesi nga ali ne Amyuuka akulira UCAA Olive Birungi Lumonya wamu ne Vianne Lugya sekamwa wa UCAA , wano babadde Ntebe
Ono agambye nti mumyaka egigya mumaaso baakufuna enteekateeka eno egatta amawanga gonna munsi era nti yakuwanga omusabaze okuba omugumu nga akozesa ennyo nga mugumu nti ennyonyi yakutambula bulungi awatali kufuna buzibu .
Asembyeyo nga asaba abasabaze okumanya nti ebyentambula bye nnyonyi byeyongera okulongooka buli kiseera okusobola okuteekawo embeera enungi eyeyagaza olwo abakozesa entabula yomubanga okuba abagumu nti yesinga okuva enungi etalina buzibu nolwekyo bagyetanire .

Amyuuka akulira UCAA Olive Birungi Lumonya nga awayamu nabamu kubakungu mulukungana lwe byenyonyi . Bano babadde Ntebe
Richard Ruhesi okuva mu UCAA agambye nti enteekateeka eno yakuyamba ebitongole byona ebikola kuntambula ye nnyonyi okukwatagana era nga kyanguyirwa okufuna obukaba bwona obukwata ku byentambula bye nnyonyi awatali kunoonya nnyo .
Ono assembyeyo nga agamba nti bagala okulaba nga kyaguyira buli muntu okumanya ebikwata ku byentambula bye nnyo amangu kisobola okukakasa abasabaze nti ennyo yentambula esinga okuba enungi ate etalina buzibu .