Abasajja babiri abagambibwa okwenyigira mu kumenya bank of Uganda mu Kampala ne babbamu laptops, bakwatiddwa ab'ebitongole by'okwerinda.
Abakwatiddwa ye Boaz Kule 19 omutuuze w'e Wabigalo ne Ramadhan Kabuye amanyiddwa nga Rhama ow'e Nsambya zooni C e Makindye Mu Kampala.
Omwogezi wa poliisi mu Kampala , Kituuma Rusoke, agambye nti laptop bbiri ku ezo ezabbibwa, zisangiddwa nabo era ng'okunoonyereza kugenda mu maaso.