POLIISI e Wakiso ekutte abantu bana, abagambibwa okumenya ekkanisa ne banyagamu ebintu ebiwerako.
Kidiridde abantu okumenya ekkanisa ya Believe Ministries e Nkoowe mu ggombolola y'e Mmende, ne babbamu ebintu okuli emizindaalo , ssente n'ebyuma ebirala.
Abakwatiddwa, kuliko Ronald Ssekitooleko agambibwa nti aludde ng'amanyiddwa ku misango egy'enjawulo, Ronald Wejuri, Robert Sekajja, ne Fatuma Nabakooza.
Kitegeezeddwa nti abakwate, basangiddwa n'ebimu ku bintu ebyabbiddwa okuva mu kkanisa eyo n'ebirala ebigambibwa okuba nabyo nga bibbe.
Amyuka omwogezi wa poliisi mu Kampala, Luke Owoyesigyire, agambye nti , basobodde okwaza amayumba mwe basula, ne bafunayo ebintu ebiwerako ebibayambako ku bujulizi.