Abagambibwa okulondoola abantu ku piki-piki ne babanyagako ssente bakwatiddwa

ABANTU 8 abagambibwa okuba ababbi b'ebijambiya abaludde nga balondoolera abasuubuzi ku pikipiki ne babanyagako ssente, bakwatiddwa.  Abagambibwa okulondoola abantu ku piki-piki ne babanyagako ssente bakwatiddwa 

Abagambibwa okulondoola abantu ku piki-piki ne babanyagako ssente bakwatiddwa
By Godfrey Kigobero
Journalists @New Vision

ABANTU 8 abagambibwa okuba ababbi b'ebijambiya abaludde nga balondoolera abasuubuzi ku pikipiki ne babanyagako ssente, bakwatiddwa.

Okukwatibwa kw'abantu bano, kidiridde ababbi, abaabadde batambulira ku pikipiki Ttaano, nga balina ebijambiya, okufumbikiriza Ausi Kisitu omubalirizi w'ebitabo mu Give and take Hardware , ne bamunyagako obukadde 242, bwe yabadde atwala mu banka.

Obunyazi buno, bwabaddewo nga Aug 22 e Kakeeka zooni mu munisipaali y'e Rubaga mu Kampala.

Poliisi, nga beyambisa CCTV Camera, basobodde okulondoola abantu bano ne bakwata Steven Bakunda amanyiddwa nga Kevin, Robert Atwine Kiiza amanyiddwa nga Mzee Lubuto.

Abalala kuliko Brain Andebuni nga yeyita Junior Black, Raymond Musuza amanyiddwa nga Ceaser , Andrew Ssali nga yeyita Ande Swag, Stanely Kanyerezi, Andrew Nsubuga ne Shivan Aboth Alecho.

Amyuka omwogezi wa poliisi mu Kampala , Luke Oweyesigyire, ategeezezza nti basobodde okuzuula obukadde 105 ku ezo ezabbibwa , pikipiki egambibwa nti yaguliddwa ku ssente ezabbiddwa, n'ensawo omuli ebiwandiiko ebyabbibwa.

Ayongeddeko nti, bano, leero basuubira okubatwala mu kkooti ku misango gy'okubbisa eryanyi.