Madrine Namubiru y'aloopye bboosi we Andrew Mugisha ku poliisi e Kayunga nti amukaka omukwano buli kiro.
Poliisi esitukiddemu n'ekwata Mugisha wabula bw'atuusiddwa ku poliisi atandise okwekola obusolosolo ne yeefuula azirise nga awulidde emisango egimwolekedde.
Namubiru nga yava Nansana ategeezezza nti Mugisha olwamutuusa yamala ennaku bbiri n'amutwala mu ddwaliro e Kayunga ne babakebera omusaayi ne yeekengera nga awulidde nga amuwandiisaayo nga mukazi we sso nga yali amulimbye nti agenda kukeberebwa TB.

Omwana Agamba Nti Mugisha Yamujja Mu Maka Ga Kitaawe Nti Amutwala Kampala N'amutwala E Kayunga Amufuule Mukazi We . Ekif;saul Wokulira (6)
Bwe baakomawo awaka yamuzuukusa mu ttumbi n'amutegeeza nga ensiri bwe ziyitiridde n'amulagira alinnye ekitanda nga kw'atadde okumutiisatiisa nga bw'alina emmundu baasitoola era ajja kumukuba amasasi ssinga anyega ekigambo kyonna awo we yatandikira okumusobyako.
Ono yatuukidde mu ofiisi ya Muhammed Ssebuliba n'amunyumiza obufere bwa Mugisha kubanga bwe yamutuusa awaka yamulimba nti mukazi we yakyadde era ne yeewana nti ekizimbe kikye sso nga yapangisa akazigo atulugunyizaawo bawala.
Namubiru ategeezezza poliisi nti yali yaakamala emyezi esatu nga agumidde embeera ey'okumukuluusanya ate Mugisha n'aleeta akawala ak'emyaka 12 nga nti kamukwasaganyizeeko emirimu wabula byazuuse nga nako yakasobyako.
Mugisha tumusanze mu ddwaliro lya Kayunga regional referral nga abasawo bamukolako.

Mugisha Nga Yeefudde Azirise Bwe Bamukutte Nga Agambibwa Okusobya Ku Abaana Abato. Ekif;saul Wokulira
Akawala kano tukafunye ne katubuulira nti Mugisha yakanona ku kyalo Mwera Wakiso nga alimbyelimbye kitaawe waako ayitibwa Byaruhanga Eric nti akaleese kumuyambe okutegeka abaana nga bagenda okusoma nga waakukasasula 150,000/- wabula olwakatuusa yatandikirawo kukakabassanya ate nga n'awaka we yakaleeta tewali mwana ekitegeeza nti Mugisha yali yeenoonyeza bibye.
Omwana ono awanjagidde kitaawe Byaruhanga nti amunone kubanga Mugisha yalimba nti amutwala Kampala wabula yamuleeta Kayunga Bugerere.
Ssebuliba nga ali ne Collins Kafeero akola ku by'amaka n'abaana ne bagenda ku muzigo Mugisha w'asula ne era balirwana ba Mugisha ne babatendera nga ono bw'ayitirizza okusobya abaana nga abakyusakyusa kumpi buli myezi esatu.
Ssebuliba agambye nti Namubiru bwe yatuuse mu ofiisi ye n'amunnyonnyola yamukwasizza abanoonyereza ku buzzi bw'emisango abaaliimisizza Mugisha ne bamukwata.
Kafeero agambye nti obuzannyo Mugisha bw'akola tebumuyamba wabula agume annyonnyole ku bikolobero abaana abawala bye bamussaako.