BANNALUWEERO nga beetegekera okwaniriza Pulezidenti Museveni asuubirwa okutandika kkampeyini ze mu kitundu kino enkya ku Lwokubiri, balaze bye baagala Gavumenti ebakolere mu kisanja ekiddako singa ebeera erondeddwa.
E Luweero, Pulezidenti Museveni gye yalwanira olutalo lw’ekiyeekera olwaleeta gavumenti ya NRM mu buyinza era gy’agenda okutandikira kampeyini ze ng’asaba Bannayuganda okuddamu okumulonda mu kisanja ekiddako ekya 2026-2031. Ekitundu kino aba NRM bakiyita ‘Makka wa Uganda’ olw’obukulu bwakyo mu lutalo lw’okwenunula.
Okusinziira ku minisita omubeezi ow’akanyigo k’e Luweero, Museveni waakwogera eri abantu ng’asinziira e Bukalasa ekisangibwa okumpi n’ekibuga Wobulenzi.
Wadde nga gavumenti ya NRM eriko bingi by’ekoledde abantu b’e Luweero, abatuuze bagamba nti, balina bye baagala pulezidenti Museveni ayongere okutereezaamu, naddala mu kulwanyisa ekisengula bantu ku ttaka, amalwaliro amatono bw’ogeraageranya ku muwendo gw’abantu, enguudo embi, amasannyalaze agavaavaako, ensako z’abalwanyi ezitasasulwanga, omujjuzo mu masomero ga gavumenti n’abasomesa abatono.
BAKYAKAABA OBWAVU
Hussein Kato, kkansala akiikirira Bombo ku lukiiko lwa Disitulikiti e Luweero yagambye nti, gavumenti yandibadde ebakolerayo ak’ensusso mu mpeereza yaayo mu ngeri y’ okubasiima olw’okuwagira olutalo lw’ekiyeekera olwaleeta NRM mu buyinza mu 1986. Kato agamba nti,
1. Obwavu bukyali bungi mu kitundu wadde nga Pulezidenti Museveni ataddewo enkola nnyingi ezigenderera okuggya abantu mu bwavu.
2. Obubbi bw’ ettaka bukyali bungi mu Luweero ekivuddeko abatuuze bangi okugobaganyizibwa ku bibanja byabwe.
Ku nsonga eno Kato akubira gavumenti omulanga eyite bannannyini ttaka ebaliyirire ab’ebibanja baweebwe ebyapa.
3. Era agamba nti, gavumenti yandibateereddewo ettendekero ly’ebyemikono mu kitundu, libangule abaana.
Livingstone Kategaya ssentebe w’omuluka gw’ e Mazzi mu Bamunanika, agamba nti;
4. Ayagala gavumenti emalirize ensonga z’okusasula ensako z’abalwanyi. Kuno kw’ossa okulwanyisa ekibbattaka ky’agamba nti, kiri mu magombolola gonna okwetooloola Luweero.
Wilberforce Aheebwa omutuuze w’e Ngoma, yagambye nti;
5. Ayagala gavumenti eyongere obukuumi mu kitundu okusobola okulwanyisa obubbi bw’ebisolo.
6. Era ayagala gavumenti ekole ekkubo eriva e Luweero okudda e Ngoma, abatuuze basobole okutambuza ente n’amata.
Charles Walusimbi ayokya ebyuma mu Luweero agamba nti;
7. Ayagala gavumenti etereeze empeereza y’amasannyalaze agavaavaako buli kiseera ne gataataaganya emirimu.
Teddy Nakaye omukulembeze w’abakyala mu Disituliki y’e Nakaseke, agamba nti;
8. Gavumenti eyongere ku bungi bwa ssente z’esindika mu pulojekiti z’okuwagira abakyala.Kino kijja kuyamba abakyala bonna okusobola okwetandikirawo emirimu egibakulaakulanya.
Pascal Imarachi, Ssentebe w’e Ziroobwe yagambye nti;
9. Ayagala gavumenti ekole oluguudo oluva e Kasawo okudda e Wobulenzi nga luyita e Ziroobwe.
Charles Kaweesi omutuuze w’e Nakasongola yagambye nti, abantu baayo tebalina bwannannyini ku ttaka okuli ebibanja byabwe. Era ayagala gavumenti esasule bannannyini ttaka ab’ebibanja bawone okugobaganyizibwa.
10. Kaweesi era ayagala gavumenti eyongere okudduukirira abatuuze ku kizibu ky’amazzi ekiri e Nakasongola ng’eyongera okusima ddaamu ne nnayikonto.
GAVUMENTI EZIMBIRA LUWEERO EKITEBE KYA DISITULIKITI
Abakulembeze n’abatuuze mu Disituliki y’e Luweero basekera mu kikonde oluvannyuma lwa gavumenti okubakana n’omulimu gw’okubazimbira ekitebe kya Disitulikiti ogubadde gubalemeredde.
Gavumenti ng’eyita mu ggye lya UPDF eriko ekibiinja ky’abazimbi kye yaleese e Luweero ng’era baabakanye dda n’omulimu nga baasoose na gwa kuzimba kikomera okwebungulula ekitebe kyonna.
Kino kiddiridde ekisuubizo pulezidenti Museveni kye yakola gye buvuddeko ng’asuubiza okukwatirako abantu b’e Luweero omulimu gw’okuzimba ekitebe kya Disitulikiti yaabwe
Abakulembeze b’e Luweero nga bakozesa ensimbi ze basolooza mu misomo, be baali baatandika ku mulimu mu mwaka gwa 2016 kyokka ne bagukomya mu kkubo olw’ebbula ly’ensimbi era kwe kwekubira omulanga eri gavumenti ebayambe.
Okusinziira ku minisita atwala akanyigo k’e Luweero, Alice Kaboyo, aba UPDF omulimu basuubira okuguggyako engalo ng’omwezi gwa February 2026 tegunnatuuka.
Katikkiro Robina Nabbanja gye buvuddeko yategeeza nti, gavumenti era yaakuyamba ne ku mulimu gw’okuzimba eddwaaliro lya disitulikiti e Kasana nga guno nagwo gunaatera okuggyibwako engalo.
Bannaluweero bazze beemulugunyiza gavumenti olw’amagye okubatwalako ekitebe kya disitulikiti yaabwe ekyali e Bombo, gavumenti n’etebazimbiramu kirala.
ABAKULEMBEZE KYE BAGAMBA
Ku nsonga z’abalwanyi, Minisita Kaboyo yagambye nti, gavumenti etaddewo omutemwa gwa buwumbi mukaaga okusasula ensako z’abalwanyi mu Luweero, Nakaseke ne Nakasongola , ng’era ku luno tewajja kusigala mulwanyi yenna abanja.
AMAWULIRE
6 Bukedde
Mmande September 29, 2025
Rashida Birungi omutuuze w’e Lukomera mu Luweero: Guno mukisa gwa njawulo. Twagala, Pulezidenti waffe tumulage omukwano n’okusinga ekyali e Kololo.
Lydia Nambwayi ow’e Luweero: Twagala pulezidenti ayongere ssente mu bibiina by’abakyala bagaziye emirimu gyabwe.Boogedde bye baagala babakolere
Charles Walusimbi, omutuuze mu Luweero: Pulezidenti tumusaba atunule mu bizibu byaffe nga Bannaluweero, kw’aba asookera okukola.
Ofiisi z’ekitebe kya disitulikiti y’e Luweero ezizimbibwa.
Hussein Kato
Livingstone Kategaya
Pascal ImarachiBannaluweero balaze bye baagala Museveni abakolere
Kaboyo era agamba nti, gavumenti erina enteekateeka ez’okuteekawo ekifo eky’enjawulo awanajjanjabirwanga abalwanyi. Ku ky’obwavu obuli mu kitundu, Kaboyo yagambye nti, gavumenti ng’eyita mu minisitule ye eriko ssente obuwumbi z’ezze eweereza mu kitundu ky’e Luweero, kyokka abatuuze be batafuddeeyo kwerwanako.
Amyuka Ssaabawandiisi wa NRM, Rose Namayanja, yagambye nti, gavumenti erina entegeka ey’okuteerawo Bannaluweero enkola ya ‘Bonna bagaggawale’ eyaabwe okusobola okweggya mu bwavu