Poliisi ye Buwama ekutte omusajja Semwogere Robert agambibwa okutataganya abakozi ba UEDCL bwebabadda bazzaawo ebikondo ebyasalibwa oluvanyuuma lw'okulonda akalulu k'omubaka we kitundu kino.
Ebikondo bino byali bitwala masanyalaze ku kyalo Buyaya kitujo cell Buwama town council mu district ye Mpigi.

Aba UEDCL nga bali ku mulimu
Asiimye banamawuliire abafuba okutegezza bekikwatako nti ebikondo bya masanyalaze bisaliddwa era nabo ne basitukiramu. Sentebe asabye banabyabufuzi mu kitundu ekyo okukkakkanya obusungu n'okukolera ewamu olw'okukulakulanya ekitundu kyabwe.
kasita John baptist abangi gwe bangi nga Uncle dduuka agamba nti okuvaako kwa masanyalaze ku mukosezza nyo ate ng'ekisera kyalimu kya kunonya sente kuza abaana ku masomero.
Agamba nti yali akola emitwalo 50,000 okuva ku firigi ate ng'ewamu mu dduuka akola emitwalo 300,000/- wabula amasanyaleze bwegavaako abadde takyaweza na mitwalo 100,000/- kuba abadde aggalawo mangu olwe kizikiza.

Abantu nga balaga awabdde omuti
Omwogezi we kitongole Kya UEDCL Jonan kizza alabudde abatuuze etteeka lya masanyalaze erya erya 2022 bategeeza nti okutema ebikondo bya masanyalaze bakuggulako misango gwa butujju era Poliisi bwekukwata ne kutwala mu kooti omusango ne gukuka muvi otanzibwa akawumbi kamu aka sente za uganda oba okusibwa emyaka 15.
Agamba nti bafunye okwemuluginya mu bitundu 340 ebitalina masanyalaze nga kiva ku ngeri eyabadde mu kitundu kino. Abategezezza nti transformer gyebalina mu kitundu kino ebamala bulungi era nabakubiriza okwota amasanyaleze nga tewali abakuba ku mukono.