Amawulire

Omuwendo gw'abantu abaafiridde mu Kabenje ka takisi ne bbaasi e Kyakatebe gw'eyongedde nga kati bali 8

Omuwendo gw'abantu abaafiridde mu Kabenje ka takisi ne bbaasi e Kyakatebe gw'eyongedde nga kati bali 8.

Omuwendo gw'abantu abaafiridde mu Kabenje ka takisi ne bbaasi e Kyakatebe gw'eyongedde nga kati bali 8
By: Godfrey Kigobero, Journalists @New Vision

Omuwendo gw'abantu abaafiridde mu Kabenje ka takisi ne bbaasi e Kyakatebe gw'eyongedde nga kati bali 8.

Akabenje Kano, kaabaddewo eggulo ku ssaawa 12 akawungeezi , Drone nnamba UBQ 154R bwe yatomereganye ne bbaasi ya kampuni ya Link nnamba UBE 535 H e Kyakatebe Kassanda ku luguudo oluva e Mityana okudda e Mubende. 

Abawerako baalumiziddwa ne baweebwa ebitanda mu ddwaaliro e Mityana gye bali mu kufunira obujanjabi. 

Poliisi efulumizza amannya g'abo abaafudde nga kuliko Richard Vumiriya ow'e Kasunganyanja e Bunyangambo, Anitter Nankya 34 nga naye w'e Bunyangabo. 

Abalala ye Esther Tumusiime 15 ow'e Nsakasa Bunyangabo,  James Tuswingire 30 nga w'e Bunjojo, phiona Atuhirwe 39 ow'e Ruti Mbarara. 

Kuliko era Janat Atugonza  40 ow'e Bunyangabo, Rinie Ahura 5 ne Christine Kabayitalya 55 ow'e Bunyangabo ng'emirambo giri mu Kiganda Health centre 4.

Omwogezi wa poliisi mu Wamala,Lamerk Kigozi, agambye nti abantu bana, bakyagenda mu maaso n'okufuna obujanjabi mu ddwaaliro e Mityana okuli Robert Muganzi 38 era nga dereeva wa bbaasi bamufunye nga bali mu kuyigga wa takisi. 

Tags: