Amawulire

Minisita Kahinda Otafire alabudde abaawangudde akalulu okwewala okusomooza abaawanguddwa

Minisita Kahinda Otafire alabudde abaawangudde akalulu okwewala okusomooza abaawanguddwa 

Otafire ng'ayogera
By: Huzaima Kaweesa, Journalists @New Vision

MINISITA w’ensonga zomunda mu ggwanga Gen. Kahinda Otafire alabudde bannabyabufuzi abaawangudde mukalulu okukomya omuze gw’okusosonkereza n’okuyeeya abo bebaawangudde kubanga kiyinza okuviirako okutabangula emirembe mu ggwanga.
Otafire abyogeredde Mutungo bw’abadde yetabye ku muzikiti gwa Mutungo-Mbuya Masjid Community ku dduwa ya Mauled eyategekeddwa mukifo kino. 

supreme kaazi wa Kampala Sheikh Hussein Ssekajja (wakati)nga ayogera

supreme kaazi wa Kampala Sheikh Hussein Ssekajja (wakati)nga ayogera


Alaze okutya nti singa bannabyabufuzi abaawangudde bagenda mumaaso okusosonkereza bebaawangudde kisobola okubaviirako okwekyawa olwo nabo nebaagala okwesasuza ekiyinza okuleetawo entalo n’enjawukana okweyongera kyokka nga bakolerera mirembe mu ggwanga.
Asabye abaawangudde akalulu okufuba okukolera abantu bonna kubanga buli omu obuweereza abwetaaga kyenkanyi nga tebaawuddemu mu nzikiriza wadde ebibiina by’obufuzi.
Supreme Kaazi wa Kampala, Sheikh Hussein Ssekajja awanjagidde gavumenti okwongera amaanyi mukuwagira banaddiini kubanga bakola omulimu munene mu ggwanga okubudabuda abo abasobeddwa nga muno mwemuli n’abo abaawanguddwa mukalulu.

Gen. Otafire (ku kkono) nga ayanirizbwa e Mutungo.

Gen. Otafire (ku kkono) nga ayanirizbwa e Mutungo.


Asiimya Bannayuganda olw’okuwuliriza omulanga gwebaabakubira ogw’okukuuma emirembe mu kalulu akaggwa n’abasaba buli omu okusonyiwa munne eyamusobya.
Mmeeya we Nakawa Paul Mugambe, yemulugunyizza ku gimu ku mivuyo egyeyolekera mu kalulu kyokka n’agumya abo bonna abaawangulwa okuguma n’asaba n’abo abaawangula okufuba okulaba nga bakolera abantu.
Oluvannyuma Gen. Otafire awaddeyo ensimbi 2,000,000/= ziyambeko mu ntekateeka y’okuzimba omuzikiti egenda mu maaso mu kifo kino.
Tags: