Amawulire

Kkooti egobye okusaba kw'abawanguddwa mu Lubaga

BAKKANSALA ba NUP ku mutendera gwa LCV ne LCIII be baamezze mu kalulu babadde baagala kuddamu kubala bululu bwabwe kyokka kkooti e Mengo mwe batutte emisango egigobye nti, baaloopedde mu kawaayiro kakyamu ekibalase nga batolotooma ng'enywedde amanaabemu ku kyalo kwekulidde!

Kkooti egobye okusaba kw'abawanguddwa mu Lubaga
By: Peter Ssuuna, Journalists @New Vision

BAKKANSALA ba NUP ku mutendera gwa LCV ne LCIII be baamezze mu kalulu babadde baagala kuddamu kubala bululu bwabwe kyokka kkooti e Mengo mwe batutte emisango egigobye nti, baaloopedde mu kawaayiro kakyamu ekibalase nga batolotooma ng'enywedde amanaabemu ku kyalo kwekulidde! 

Baabadde mu kkooti ya Mwanga II e Mengo, mu maaso g'agikulira Doreen Ajuna eyakabatemye ekyalesse aba NRM nga basagambiza ng'abakimezezza okw'enjanla.

Julius Katongole owa NUP eyabadde yeesimbyewo okukiikirira abatuuze b'e Lubaga III ku ddaala lya LCV omuli ebitundu nga Najjanankumbi, Nateete ne Lubaga, yatutte omusango ng'awakanya obuwanguzi bwa munnaNRM Bonny Kabugo era ng'ayagala obululu buddemu waakiri bubalibwe ye alangirirwe ku buwanguzi.

Ng'ayita mu munnamateeka we Zephaniah Zzimbe yatutte okwemulugunya kuno ng'agamba nti ku bifo ebirondebwamu 214, alina ffoomu okulangirirwa ebivudde mu bululu 182 zonna nga zikakasa obuwanguzi bwe "Katongole".

Yagasseeko nti, 39 zokka z'atalina kyokka nga n'ekyamulemesa okuzi

Tags: