Bino byabaddewo ku Lwokusatu okuliraana siteegi y’e Kansanga, Rose Nalwevumo eyabadde atambula ku Burton Street ku ludda lwa paaka enkadde ye yagudde. Abazirakisa baamuyoddeyodde ne bamutwala mu kalwaliro ka Red Cross okufuna obujjanjabi obusookerwako.
Bosco Chandia omu ku badduukiridde Nalwevumo yagambye nti kirabika omukyala ono yafunye obuzibu oba yabadde mu birowoozo ate nga waatambulira tewali lukomera.
Abaserikale ba poliisi abakulembeddwamu akulira poliisi y'oku Mega, Gashom Mate baayanguye ne batwala Nalwevumo mu kalwaliro ne bamukolako n’okuziba ekiwundu kye yafunye n’oluvannyuma ne bamulinyisa kabangali n’atwalibwa mu ddwaaliro e Naguru okwongera okufuna obujjanjabi.
KCCA yaggulawo paaka enkadde ng’emalirizza okugiddaabiriza munda wabula ng’ebadde ebuzaayo okuteekako olukomera okwetooloola.