Abadde akulira SACCO y'abaasomerako e Namiryango asiibuddwa

Abadde Ssentebe wa SACCO y’abaasomerako e Namilyango (NACOBA SACCO), Omukulu Edward Mpalanyi, eyavudde mu wofiisi eno oluvannyuma lw’okumaliriza ekisanja kye eky’emyaka 2, agenze musanyufu.

Abadde akulira SACCO y'abaasomerako e Namiryango asiibuddwa
By Mazinga Mathias
Journalists @New Vision

Abadde Ssentebe wa SACCO y’abaasomerako e Namilyango (NACOBA SACCO), Omukulu Edward Mpalanyi, eyavudde mu wofiisi eno oluvannyuma lw’okumaliriza ekisanja kye eky’emyaka 2, agenze musanyufu.

Newaankubadde nga waliwo ebisoomooza bingi ebijjidde mu kiseera ky’obukulembeze bwe, okugeza ekirwadde kya Covid-19, ne Ebola, NACOBA SACCO esobodde okugenda mumaaso. Bammemba beeyongedde okuva ku 405 (2022) okutuuka ku 497. Ssente bammemba zebaterese zeeyongedde okuva ku buwunbi 2.272 okutuuka ku buwumbi 2.338. Ssente SACCO z’esize zeeyongedde okuva ku bukadde 923 okutuuka ku kawumbi 1.274. Ebintu bya SACCO ebyali bobalirirwamu obuwumbi 2.763 kati biweza obuwumbi 3.196.

Bweyabadde awaayo obuyinza mulukiiko ttabamiruka olwa bammemba ba SACCO eno olwatudde ku Royal Resort Hotel e Bugoloobi ku Lwomukaaga oluwedde, omukulu Edward Mpalanyi (Ssentebe eyawummudde) yakulisizza nnyo bammemba olw’obuwanguzi buno, era n’abasaba bongere okuyitimusa SSACCO eno ngabayita mukutereka ensimbi, okuzeewola, ate n’okusasula looni zaabwe mubudde obutuufu.

Kumukolo guno, bammemba baasonze obukadde bw’ensimbi za Uganda 60 okuwagira woofiisi ya Ssentebe. Kuzino Dokita Dan Kibuuka Musoke y’awaddeyo obukadde 20, ate Ssentebe eyawummula, Ronald Kasozi n’awaayo obukadde 5.

Bammemba abakoze obulungi okukira kubannaabwe, naabo abaawagidde ennyo SSACO eno, baasiimiddwa era nebaweebwa ebirabo