Omuntu omu akubiddwa amasasi agamusse bw'abadde awagaanya okuyingira mu bbaala awabadde wategekeddwa empaka z'ebikonde.
Bibaddewo ku ssaawa nga 6:30 nga bukya mu Muzuri Guest House and Bar e Bunangwe zzooni e Kamuli, bwe baakubye Hussein Tenywa 41 n'afa.
Kigambibwa nti akanyoolagano kaatandikidde ku mulyango, Tenywa bwe yabadde ayagala okuyingira alabe empaka z'ebikonde ku kifuba ne bamukuba amasasi n'afa.
Omulambo gutwaliddwa mu ggwanika mu ddwaaliro e Kamuli ng'okubuuliriza kugenda mu maaso era nga waliwo ebimu ku bizibiti ebizuuliddwa.
Omwogezi wa poliisi e Busoga North, Samson Lubega, agambye nti okuzuula eyamukubye essasi kugenda mu maaso n'okumanya engeri empaka z'ebikonde gye zaategekeddwamu era n'okumanya eyabawadde olukusa.