Amawulire

Poliisi ekutte 22 ku by'okufera abasuubuzi ssente nga babasuubizza ddoola!

Abantu 22 abagambibwa okuba mu kibinja ekirudde nga kinyaga abasuubuzi ssente nga bababuzaabuza nti balina ddoola, bakwatiddwa.

Poliisi ekutte 22 ku by'okufera abasuubuzi ssente nga babasuubizza ddoola!
By: Godfrey Kigobero, Journalist @New Vision

Abantu 22 abagambibwa okuba mu kibinja ekirudde nga kinyaga abasuubuzi ssente nga bababuzaabuza nti balina ddoola, bakwatiddwa.

 

Kiddiridde okulimbalimba abasuubuzi abawerako okuva e Kampala, Masaka, Jinja n'awalala, ne babatwala e Kamuli nga bagamba nti waliyo omukazi omukadde alina ddoola eziwerera ddala, naye nga tamanyi kuzivungisa.

 

Kitegeezeddwa nti bwe babatuusa eyo nga babeefuulira nga babanyagako ssente nti era olusembyeyo,  waliwo gwe banyazeeko obukadde 100!

 

Ekikwekweto kino, kikoleddwa ku kyalo Buwagi mu muluka gw'e Nawantumbi mu ggombolola y'e Nawanyago e Kamuli awagambibwa okuba ekibondo ky'abafere n'ababbi.

 

Omwogezi wa poliisi mu Busoga North , Samson Lubega, agambye nti baliko emisango mingi gye banoonyereza egizze giroopebwa.

 

Agasseeko nti era baliko ebizibiti bingi, bye babasanze nabyo ng'okubuuliriza, kugenda mu maaso.

Help us improve! We're always striving to create great content. Share your thoughts on this article and rate it below.

Tags:
Amawulire
Ssente
Basuubuzi
Kukwata
Ddoola
Poliisi