EDDAGALA lya gavumenti eriwerako n'ebintu ebirala ebikozesebwa mu kujjanjaba mu malwaliro , bizuuliddwa mu kikwekweto ekikoleddwa poliisi e Kamuli.

Mmotoka omwasangiddwa ebintu bya gavumenti
Omuntu omu Lydia Nangobi akwatiddwa mu kikwekweto, annyonnyole abantu abalala b'akolagana nabo okufuna eddagala lya gavumenti n'ebikozesebwa ebirala omuli ne ffiriigi nga nayo esangiddwa mu mmotoka.
Kigambibwa nti eddagala lino okuli ebigambo 'Government of Uganda not for sale ' n'ebikozesebwa ebirala ebigambibwa okuba ebya gavumenti , bisangiddwa mu kizimbe ekimu e Kamuli era nga poliisi eyigga abalala.

Ffiriigi ekuuma eddagala eyakwatiddwa
Omwogezi wa poliisi mu Busoga North, Samson Lubega, agambye nti , bakolagana n'ebitongole nga NDA , ne NMS okulaba nga bazuula ebikwata ku ddagala n'ebikozesebwa bino nti kuba n'erimu , libadde lyayitako ennaku.