Ababaka baagala wateekebwewo ekitongole eky'etongodde kinonyereze ku NSSF

ABABAKA ba palament abakiikirira abakozi baagala gavumenti efune ekitongole ekibalirizi ky’ebitabo nga kiri ku mutendera gwensi yonna okunonyereza ku mivuyo egyetobese mu kittavu ky’abakozi ekya NSSF.Bano nga bakulembeddwamu Aston Rwakajara n’abalala okubadde  Margret Rwabushija, Abdul Byakatonda ne Agnes Kunihira basinzidde mu kakiiko akanonyereza ku nzirukanya ya NSSF ne bategeeza ababaka nti bonna abali mu byokunyonyereza ku NSSF mukadde kano tebesigika nga bayinza okubagulirira olwo ensimbi y’omukozi ne tatasiibwa.

Ababaka nga bali mu kakiiko
By Edith Namayanja
Journalists @New Vision

ABABAKA ba palament abakiikirira abakozi baagala gavumenti efune ekitongole ekibalirizi ky’ebitabo nga kiri ku mutendera gwensi yonna okunonyereza ku mivuyo egyetobese mu kittavu ky’abakozi ekya NSSF.

Bano nga bakulembeddwamu Aston Rwakajara n’abalala okubadde  Margret Rwabushija, Abdul Byakatonda ne Agnes Kunihira basinzidde mu kakiiko akanonyereza ku nzirukanya ya NSSF ne bategeeza ababaka nti bonna abali mu byokunyonyereza ku NSSF mukadde kano tebesigika nga bayinza okubagulirira olwo ensimbi y’omukozi ne tatasiibwa.

Omubaka  Rwakajara ategezeezza ababaka nti  ebitongole naddala ebiddukanya NSSF mukadde kano naddala minisitule y’ebyensimbi ababi kyebeyambisa ne bajingirira empapula olwo ensimbi ne zifuluma nga bwekuba nga okunonyereza kuli ku nsimbi, ensonga yetaaga bakugu bakakase mukolondoola ensansaana y’ensimbi ate nga si ba kuno.

Ababaka nga bali mu kakiiko

Ababaka nga bali mu kakiiko

Agambye nti buli mwezi NSSF ekungaanya obuwumbi 100 ez’abakozi nga zino ssente nnyingi ezirina okukakasibwa nti ziri mu mikono mirungi.

Alumiriza minisitule y’ebyensimbi okubeera n’omukono mu mivuyo egiri mu NSSF nti n'entalo zonna eziriwo naddala ku bukulembezze ziva ku abo abali mu minisitule  abeenonyeza ebyabwe,naawa ekyokulabirako nti mu bitongole byonna NSSF byezze esigamu ensimbi okuli UMEME n'ebirala , waliwo abanene mu minisitule ababiri emabega.

Agasseeko nti ensimbi NSSF zezze esiga mu ku kuzimba ebizimbe kufiirizibwa kwennyini eri abakozi, era awadde ekyokulabirako nti amayumba agazimbibwa e Lubowa gatundibwa ku beeyi nnene nnyo okuva ku buwumbi 3,2 nga zino bannansi batono nnyo abasobola okuzigula.

Okusinziira ku biwandiiko, NSSF yakasasanya trillion 1 n’obuwumbi 251 mu pulojekiti z’okuzimba ebizimbe eby’enjawulo