Amawulire

Ababaka abasiitaanye okwesogga Palamenti

OKULONDA kw’ababaka ba Palamenti kwabaddemu ebyewuunyisa bingi olw’abantu abaludde nga beesimbawo ne batayitamu bwe baawangudde omuli n’abadde yaakeesimbawo emirundi 7 awamu n’abakyusizza ebibiina okukira ebikooyi!

Harriet Nakweede Kafeero eyawangudde eky’omukazi - Kayunga.
By: Bukedde Omusunsuzi, Journalists @NewVision

OKULONDA kw’ababaka ba Palamenti kwabaddemu ebyewuunyisa bingi olw’abantu abaludde nga beesimbawo ne batayitamu bwe baawangudde omuli n’abadde yaakeesimbawo emirundi 7 awamu n’abakyusizza ebibiina okukira ebikooyi!
Richard Senteza (IND/Lugazi Munisipaali) yawangulidde ku mulundi gwakutaano nga yeesimbawo. Ebisanja ebisatu ebyasooka yali ku kaadi ya DP bwe yalaba tayitamu ne yeesogga NRM n’afuna ne kaadi ya NRM mu 2021 era n’atayitamu.
Senteza okusooka yali yeeyita Richard Boogere Ssenkaaba naye nga buli lw’agwa abantu bamuyeeya nti akyakaaba nnyo okutuusa nga yeggyeeko erinnya.

Kye yakola, naye erinnya n’alyeggyako n’atandika okweyita Richard Senteza. Yeetaba mu kamyufu ka NRM aka 2021 n’awangulwa Isaac Mulindwa Ssozi kyokka n’atamatira n’akomawo ku bwa nnamunigina. Abalonzi abaalonze Senteza obwedda bawoza, ‘Leero katulonde Senteza bambi”.
Solomon Ossiya Alemu (NRM/Toroma) n’okutuusa kati tannakikkiriza nti yayiseemu oluvannyuma lw’okwesimbawo emirundi mukaaga nga tayitamu. Mukama yamujjukidde n’ayitamu ku gwomusanvu bwe yafunye obululu 10,044 ate eyamuddiridde Joseph Andrew Koluo (IND) n’afuna 5,778.
Harriet Nakweede Kafeero (NUP/Mukazi/Kayunga) y’omu ku bannabyabufuzi ababonyeebonye olw’okwesimbangawo n’atayitamu. Ebyobufuzi yabitandikira mu kibiina kya FDC n’abeerako ssentebe waakyo mu disitulikiti y’e Kayunga okumala emyaka 10.
Yeesimba ku kifo ky’omubaka omukazi owa disitulikiti mu 2006 ne 2011 nga tayitamu. Mu 2016, yakyusa obuwufu ne yeesimba ku bwa kansala ku disitulikiti ng’akiikirira Kayunga town council. Mu 2021 yaddamu okuvuganya ku bubaka bwa disitullikiti ng’ali ku kaadi ya NUP n’awangulwa Idah Nantaba. Oluvannyuma lwa ssentebe wa disitulikiti Ffeffekka Sserubogo okufa, NUP yamusimbawo era n’atayitamu, wabula nga yasigala tamatidde ng’agamba baamubba. Mu 2026, Nakweede yazzeemu okwesimbawo era ku mulundi guno n’ayitamu.
Hakim Kizza Sawula (NUP/Bukoto South), yasooka okwesimba ku bubaka mu 2011 bwe yavuganya ku kifo ky’omubaka akiikirira abavubuka mu Buganda n’atayitamu.
Mu 2021 yayagala okwesimba ku bubaka bwa Lubaga North naye ekibiina ne kitamuwa kaadi n’asalawo okwesimba ku bwa kansala bwa KCCA n’ayitamu. Mu 2026, Twaha Kagabo bwe yava mu NUP, kyawa Kizza omukisa ogudda ku butaka n’asaba kaadi ne bagimuwa.
Susan Nakawuki (NRM/Mawokota South) yakoze ekyafaayo bwe yawangudde. Yasooka kubeera mubaka wa Busiro East (2006-2011) nga wa FDC nga mu kiseera ekyo yali afumba wa Emmanuel Matovu Magoola. Mu 2011 yakyusa konsitityuwensi n’agenda e Masaka munisipaali n’awangulwa Mathias Mpuuga. Yakyusa obuwufu n’abuzza ku kifo ky’omubaka wa Palamenti y’obuvanjuba bwa Africa n’amalayo ebisanja bibiri.
Mu 2021 yeesimbawo e Mawokota South ku kaadi ya NRM n’awangulwa Yusufu Nsibambi owa FDC. Bwe yalemeddeko n’akomawo mu 2026, yatuuse ku buwanguzi.
Ivan Kyeyune (NUP/Nakasongola), yakoze ekyafaayo bwe yafuuse omubaka w’oludda oluvuganya asoose okuwangula obubaka mu disitulikiti y’e Nakasongola. Abadde yaakeesimbawo emirundi ebiri ng’agwa okutuusa bwe yayiseemu ku gwokusatu.
Jimmy Kanaabi (NUP/Buikwe South), okuwangula yavudde wala kuba yasooka kwesimba ku bubaka ku kifo kye kimu mu 2016 ng’ali ku kaadi ya FDC n’awangulwa Ronnie David Mutebi. Mu 2021, yeesimbawo ku bwa ssentebe bwa disitulikiti ku kaadi ya FDC n’awangula, naye bwe yatuuse mu 2026 n’akyusa ekibiina n’adda mu NUP n’alondebwa ku bubaka bwa Buikwe South.
Abed Nasser Mudiobole (NUP/Iganga Munisipaali), yayitiddemu ku mulundi gwakuna nga yeesimbawo naye ng’egyasooka yali mu FDC. Bwe yalaba tebitambula ne yeesogga NUP era abadde amanyiddwa mu kukuba enkuhhaana ez’amaanyi.
Minsa Kabanda (NRM/Kampala Central), oluvannyuma lw’okwegeza mu kifo ky’omubaka wa Kampala Central mu 2016 n’atayitamu, ku luno yakomyewo amazeeko. Yawangudde n’obululu 22,332 n’amegga Ssaabawandiisi wa NUP, Lewis Rubongoya eyafunye 18,242.
EBYEWUUNYISA EBIRALA MU KALULU
Okulonda kwalese Rebecca Kadaga (NRM/Mukazi/Kamuli) ng’ali mu kiti kikye, bwe yawangudde ekisanja ekyomwenda okuva lwe yasooka okuwangula mu NRC mu 1989. Emirundi gyonna egyaddirira okwali ogwa CA, 1996, 2001, 2006, 2011, 2016, 2021, 2026 azze akubira waggulu. Okulonda era kwakomezzaawo abamu ku baaliko ababaka nga Henry Kamya Makumbi (Mityana South), Ruth Katushabe (mukazi/Bukomansimbi), Carol Nannyondo Birungi (Kyamuswa), Amelia Kyambadde (Mawokota North) n’abalala.
ABABAKA B’ABAKOZI BALONDEBWA LEERO
Olwaleero akakiiko k’ebyokulonda lwe kagenda okulondesa ababaka b’abakozi abagenda okukiikirira abakozi emyaka etaano egy’ekisanja ekitandika mu May w’omwaka guno. Abakozi mu Uganda bakiikirirwa ababaka bataano be balonda mu nkola eya ‘Electoral College’, nga balondebwa abakiise b’abakozi okuva mu bibiina ebirwanirira eddembe ly’abakozi, kw'ossa abakozi abatalina kibiina kyonna mwe beegattira

Tags: