Ababaka abakiikirira abavubi batabukidde bannamagye abapya abaakwasiddwa ogw'okulwanyisa envuba embi

ABABAKA ba Palamenti abakiikirira ebitundu ebiriko ennyanja bavuddeyo ne beemulugunya ku bantu abapya gavumenti be yawadde obuyinza okulwanyisa envuba embi ku nnyanja be bagamba nti bagenda kwongera mivuyo mu bizinensi y’ebyennyanja.

Ababaka abakiikirira abavubi batabukidde bannamagye abapya abaakwasiddwa ogw'okulwanyisa envuba embi
By Lawrence Kizito
Journalists @New Vision

Bano abaateereddwa mu bitundu eby’enjawulo ne baweebwa obuyinza okulwanyisa envuba embi, beegasse ku magye ga UPDF agaasooka okutwalibwa ku nnyanja okulwanyisa ebikolwa by’envuba embi.

Wabula ababaka bagamba nti bano bagenda kwongera kuleeta kavuyo kubanga mu kubaleeta Minisitule y’ebyobulimi, Obulunzi n’obuvubi teyannyonnyodde ggwanga ngeri gye bagenda kukolamu mirimu gyabwe.

Bino ababaka babyogeredde mu lukungaana lwa Bannamawulire lwe baatuuzizza ku Palamenti nga baabadde bakulembeddwaamu Omubaka Charles Tebandeke (Bbaale).

Tebandeke agambye nti abantu bano obuyinza bwabaweereddwa Minisitule y’ebyobulimi, Obulunzi n’obuvubi ng’ebbaluwa ezibakakasa ziriko Omukono gwa Minisita Omubeezi ow’ebyobuvubi Hellen Adoa.

Ebbaluwa zino ababaka ze balaze bannamawulire, ziwa abantu bano obuvunaanyizibwa okulondoola eby’envuba embi, ku nguudo, mu butale bw’ebyennyanja, Fakitole ne ku nsalo za Uganda n’amawanga amalala.

Ababaka bagamba nti abantu bano omulimu ogwabaweereddwa munene nnyo nga kyabadde kyetaagisa okusooka okwebuuza ku bakwatibwako eby’obuvubi.

Ensasula y’abantu bano temanyiddwa, omuntu abavunaanyizibwako naye tamanyiddwa, engeri gye banaakolamu nayo terambikiddwa, ng’ababaka bagamba nti kyakukaluubiriza abavubi n’abasuubuzi okwekubira enduulu singa babeera batulugunyiziddwa abantu bano.

Basabye Gavumenti okuggyayo abantu bano mu bwangu, oba si ekyo ensonga baakuzitwala mu kkooti.