Abantu 10 abagambibwa okuba ab’omutawaana mu kutigomya abatuuze b'e Buswabulongo e Mityana, bakwatiddwa poliisi.
Kino kiddiridde okwemulugunya okubadde kususse mu kitundu ekyo olw'obubbi bw'ebijambiya, okumenya amayumba n'okuteega abantu.
Mu bakwatiddwa kuliko abasajja 9 n'omukazi omu era nga basangiddwa n'enjaga n'ebyuma ebimenya.
Omwogezi wa poliisi mu Wamala, Lameck Kigozi agambye nti baakuvunaanibwa ng'okunoonyereza kuwedde.