Ebyokwerinda binywezeddwa mu kuddamu okulonda e Lusaze.
MUNNAKIBIINA kya NRM, Isaac Kiyimba ow’emyaka 70, azzeeemu okulondebwa ku bwassentebe bw’ekyalo Lusaze ekisangibwa mu muluka gw’e Lubya mu munisipaali y’e Lubaga bw’afunye obululu 211 ate Katumba Walter akutte eky’okubiri n’afuna obululu 7.
Okulonda okubadde okw’ebbugumu bakutegekedde ku limbo e Lusaze ng’abantu bakujjumbide mu bungi.
Abeebyokwerinda okubadde militale, poliisi n’abali mu ngoye za bulijjo bakedde okuyiibwa mu kifo kino okukakansa ng’akalulu akano akadiddwaamu oluvanyuma lw’akasooka okubaamu ebirumira ate ne ku mulundi guno tekasattulukuka.
Abavuganya babadde 4 okuli; Robert Kiyimba, Walter Bogere, Kayondo Jonathan ne Isaac Kiyimba, wabula ng’okuvuganya okw’amaanyi kusoose kubeera wakati wa Isaac Kiyimba ne Jonathan Kayondo.
Ku ssaawa 2:00 ez’oku makya okusoma amannya kutandise era buli linnya erisomwa nga lyekenneenyezebwa okukakasa nga mulonzi olwo n’akkirizibwa okuyingira mu kifo awalonderwa.
Mu mbeera y’okwekenneenya waliwo omukyala gwe bakwatidde mu kituli ng’ono abadde agezaako okukozesa akapapula akakyamu ayingire alonde wabula ab’akakiiko k’ebyokulonda ne bamugwamu ne bamukwasa poliisi.
Era wano twogedde n’ababiri ababadde ku mbiranye nga buli omu awaga okuwangula kubanga y’amanyi ebizibu ebiruma abantu be.
Ku ssaawa 8:30 n’ekitundu ez’emisana akuliddemu okulonda Godfrey Meshati alagidde abeesimbyewo okusimba, abantu baabwe babasimbe mu mugongo.
Kayondo n’abantu be batandiise okwefuula ne bategeeza ng’abantu baabwe bwe balemedde wabweru era n’ekiddiridde kwekandagga n’atambula n’abawagizi be ne bava awalonderwa.
Kino tekirobedde kulonda kugenda mu maaso era ebyokwerinda byongedde okunywezebwa ng’eno bannakibiina kya NRM bwe bawaga.
Oluvannyuma akuliddemu okulondesa atandise okubala ng’asokedde ku kifo kya Kayondo n’abalawo zero, n’adda ku kya Walter ng’afunye obululu 7 n’amaliriza n’obwa Kiyimba n’afuna 211.
Ng’akozesa obuyinza obumuweebwa ssemateeka asomye ebivudde mu kulonda n’alangira Kiyimba ku buwanguzi olwo abawagizi be bafa essanyu.
Kiyimba yeebazizza abalonzi b’e Lusaze abamutaddemu obwesige era bayisizza ebivvulu nga bamuwerekera okudda awaka era nga bagenda beera enguudo.