OMULIRO gusse abaana basatu abaabadde basuze bokka mu nnyumba nga bazadde baabwe tebaliiwo.
Abaana abafudde ye: Namiru Ellah,12, Amani Namulema, 5 ne Namujju Tamale, 3 abazaalibwa Jullie Nalubwama ne Lenon Kavuma Lenon ab’oku kyalo Mpala mu ggombolola y’e Katabi ku lw’e Ntebe Omumyuka w’omwogezi wa poliisi atwala Kampala n’emiriraano, Luke Owoyesigire yagambye nti omuliro abaana gwabokezza ku ssaawa 7 ogw’ekiro nga nnyabwe Nalubwana ne kitaabwe Kavuma tebaliiwo.
Yagambye nti Kavuma yabadde Jinja ku mirimu. Owoyesigyire yagambye nti omuliro gwakutte ennyumba ku ssaawa nga musanvu ez’ekiro era ssentebe w’ekyalo ye yatemezza ku poliisi ezikiriza omulimu eyatuuse ng’abaana ababiri bafiiridde ebweru ate nga omuto naye yaggyiridde mu nyumba.
Yagambye nti abamu ku bamuliraanwa baategeezezza bambega ba poliisi nti omukyala abadde atera okulekawo abaana n’akomawo mu ttumbi.
Poliisi egenda mu maaso n’okunoonyereza oba waabaddewo embeera y’obulagajjavu n’okuzuula ekyavuddeko omuliro.