Abalamuzi babiri basimattuse okufiira mu Kabenje e Iganga

Abalamuzi babiri abeddaala erisooka, basimattuse okufiira mu kabenje akabaddemu emmotoka Ssatu e Iganga. 

Abalamuzi babiri basimattuse okufiira mu Kabenje e Iganga
By Godfrey Kigobero
Journalists @New Vision

Abalamuzi babiri abeddaala erisooka, basimattuse okufiira mu kabenje akabaddemu emmotoka Ssatu e Iganga. 

Akabenje kabaddewo ekiro ekikeesezza leero ku ssaawa nga Ssatu e Namasoga ku luguudo oluva e Jinja okudda e Iganga . 

Kabaddemu emmotoka ekika kya FUSO fighter UAT 057S nga dereeva tannateegerekeka bimukwatako n'endala Subaru Legacy nnamba UBN 795 V nga yabadde evugibwa Yahaya Kisakye ow'e Jinja e Njeru , Canter nnamba UA 940AH ng'evugibwa Henry Lubowa 31 ow'e Kireka wamu n'endala nnamba UA 809BE Toyota Harrier . 

Eno Harrier kigambibwa nti yabadde evugibwa Omulamuzi w'eddaala erisooka Gerald Emongo 33 ow'e Nsambya era nga mwabaddemu  Phionah Nakibuuka naye nga Mulamuzi ow'eddaala erisooka  nga naye w'e Nsambya era nga yeyasinze okulumizibwa.

Omwogezi wa poliisi mu Busoga East ,Micheal Kafayo agambye nti a kabenje kavudde ku FUSO eyagaanyi okusiba n'etomera Canter eyabadde etisse amagi n'etomera n'endala n'egwa n'eziba ekkubo. 

Agambye nti okubuuliriza ku kabenje Kano, kugenda mu maaso.