Abaagala ebifo mu Wakiso basunsulwa leero

Akulira eby'okulonda e Wakiso, Tolbert Musinguzi atandise okusunsula abegwanyiza ebifo bya bakkansala abatuula ku disitulikiti ssaako abaagala ekya ssentebe wa disitulikiti ye Wakiso. 

Omu kubazze okwewandiisa ng'aggyayo empapula
By Peter Ssaava
Journalists @New Vision

Akulira eby'okulonda e Wakiso, Tolbert Musinguzi atandise okusunsula abegwanyiza ebifo bya bakkansala abatuula ku disitulikiti ssaako abaagala ekya ssentebe wa disitulikiti ye Wakiso. 
Okusunsula kukoleddwa ku kitebe kya disitulikiti e Wakiso wakati mu by'okwerinda eby'amaanyi.

AAbamu ku bantu abazze okwewandiisa

AAbamu ku bantu abazze okwewandiisa

Abasoose okusunsulwa beebo abava mu munisipaali ya Makindye Ssabagabo, Busiro South ne munisipaali ye Ntebe. 
Abawandisiddwa kuliko Sherry Kalyebara akikirira abakyala ku disitulikiti okuva mu Ntebe division A ssaako Margaret Nakijoba Lubwama akikirira abakyala mu Ntebe division B.
Okusunsula kubagala ebifo ku mutendera gwa LC5 kugenda kugendera ddala okutuuka ku Lwokutaano.