ABASERIKALE ba UPDF bawadde abantu ab’enjawulo mu disitulikiti y’e Rakai endokwa z’emiti ez’ebibala wakati mu bikujjuko byabwe ebya Tarehe Sita ng’akabonero k’okukuuma obutonde bw’ensi. Bano era beetabye mu kukola bulungi bwansi kw’ossa okuwa obujjanjabi obw’obwereere eri abantu nga bino bibadde mu ggombolola y’eddwaniro e Rakai
era ne balongoosa obubuga okuli; Buyamba, Lumbugu n’obulala. Eyakuliddemu enteekateeka eno, Lt. Col. Patrick Matovu ow’ekibinja ky’eggye ly’oku ttaka ekisooka agambye nti kino bakikola ng’akabonero k’okussaawo enkolagana
wakati w’omuntu waabulijjo.
Ono era agambye nti kyabadde kya nkizo okusalawo okukuliza olunaku luno mu bbendobendo ly’e Masaka olw’ensonga nti Bannamasaka baabawagira nnyo mu lutalo
lw’okununula eggwanga . Ssentebe wa disitulikiti eno, Ssaalongo Samuel Ssekamwa Kaggwa yeebazizza pulezidenti Museveni n’eggye ly’eggwanga olw’okujjukira obuwagizi obwaweebwayo Banna Rakai mu kununula eggwanga.