OMUPIIRA ne bannabyamizannyo mu ggwanga bafunye ekyekango, Darius Mugoye abadde omumyuka owookubiri owa pulezidenti wa FUFA (ekibiina ekifuga omupiira muggwanga) bw’afudde ekibwatukira ekireseewo ebibuuzo ebingi.
Okufa kwa Mugoye kwakakasiddwa FUFA mu kiwandiiko kye yafulumizza nga kirambika nti yafunye okulumwa omutwe ogw’embagirawo era n’addusibwa mu ddwaliro ly’e Mengo eggulo (Mmande) wabula ku makya ga leero (November 7, 2023) n’assa omukka ogw’enkomerero.
Ono abadde aludde wansi wa FUFA ng’aweereza omupiira okuva ku mulembe gwa Dr. Lawrence Mulindwa eyaliko pulezidenti wa FUFA nga kati ye nnannyini Vipers SC.
Mugoye abadde ku kakiiko akaakuliddemu kampeyini ya PAMOJA Bill omuli Uganda, Kenya ne Tanzania okwegatta okutegeka empaka za AFCON 2027 era essanyu lino afudde talinyumiddwa wadde CAF ebadde yawa amawanga gano olukusa okutereeza ebisaawe n’ebisaanyizo ebirala okulaba nga bategeka AFCON.
Mu ngeri y’emu Mugoye y’abadde dayirekita w’essomero lya St. Mary’s Nabweru eribadde lyakakola ttiimu y’omupiira eya St. Mary’s New Hope FC evuganyiza mu kibinja kya FUFA ekya wansi.
Y’abadde ssentebe w’akakiiko akategesi k’empaka za FUFA ez’omupiira gw’ebibinja bya wansi (Divisions).
Enkya (November 8, 2023) omwoyo gw’omugenzi gwa kusabirwa mu Lutikko e Namirembe ku Ssaawa (1:00) ey’oku makya, waakutwalibwa ku St. Mary’s e Nabweru ku ssaawa (4:00) ku makya, ku ssaawa (8:00) ez’emisana, waakutwalibwa ku kyalo Rubanga mu disitulikiti y’e Sheema era waakuziikibwa eno ku Lwokuna (November 9, 2023)