Amawulire

Okukyaza empaka za AFCO kya kuyamba Uganda ne East Africa - Museveni

PULEZIDENTI Yoweri Museveni eyozaayozezza amawanga ga East Africa omuli Uganda, Kenya ne Tanzania okutuuka ku kkula ery'okukyaza ekikopo ky'omupiira eky'ensi empanguzi mu Africa ekya Africa Cup of Nations (AFCON) 2027 .

Okukyaza empaka za AFCO kya kuyamba Uganda ne East Africa - Museveni
By: Wilson Ssemmanda, Journalist @New Vision

PULEZIDENTI Yoweri Museveni eyozaayozezza amawanga ga East Africa omuli Uganda, Kenya ne Tanzania okutuuka ku kkula ery'okukyaza ekikopo ky'omupiira eky'ensi empanguzi mu Africa ekya Africa Cup of Nations (AFCON) 2027 .

Asinzidde ku mukuu ggwe ogwa X (eyayitibwanga Twitter) n'ategeeza nti kya kuleeta enkulaakulana naddala mu byobulambuzi

Asiimye bonna abakoze ennyo okulaba ng'ensi zino zonsatule zifuna omukisa ogw'okutegeka empaka zino.

Museveni yeegattiddwaako abakulembeze abalala nga Sipiika Anita Amon, Katikkiro wa Uganda Robbina Nabbanja, Omumyuka wa Sipiika, Thomas Tayebbwa n'abalala bangi abaayozaayozezza Uganda okuba erimu ku mawanga agagenda okutegeka AFCON 2027.

Help us improve! We're always striving to create great content. Share your thoughts on this article and rate it below.

Tags:
Africa Cup of Nations (AFCON) 2027
Uganda
Kenya
Tanzania