Aba NUP bambalidde Bwanika ku byama by'ekibiina by’asaasanya

ABAKULEMBEZE mu kibiina kya NUP e Makindye nga bakulembeddwaamu Mmeeya w’e Makindye bavuddeyo ne bambalira omubaka w’e Kimanya - Kabonera Abed Bwanika, ku ngeri gy'akutemu ensonga ezifa munda  mu kibiina ng'ayita ku mikutu g'yamawulire  egy'enjawulo nga kw'otadde n’okwasa ebyama ebifa mu kibiina munda.

Mulyanyama ku ddyo ng'annyonnyola n'omumyuka we amuddiridde.
By Bukedde Omusunsuzi
Journalists @NewVision
#NUP #Bwanika #byama #bambalidde #asaasanya

Bya Benjamin Ssemwanga

ABAKULEMBEZE mu kibiina kya NUP e Makindye nga bakulembeddwaamu Mmeeya w’e Makindye bavuddeyo ne bambalira omubaka w’e Kimanya - Kabonera Abed Bwanika, ku ngeri gy'akutemu ensonga ezifa munda  mu kibiina ng'ayita ku mikutu g'yamawulire  egy'enjawulo nga kw'otadde n’okwasa ebyama ebifa mu kibiina munda.

Mmeeya w’e Makindye, Ali Kasirye Nganda ‘Mulyanyama’ agamba nti ekibiina kya NUP kikyakula era waliwo ebikisoomooza naye byonna balina kubikwata  kisajja kikulu, okulaba nga bagonjoola ebibasoomoza munda wabula ate ssi kwasanguza byama bya kibiina mu lwatu,o kufuuka kisekererwa.

Mu mbeera eno, bbo bagamba nti ekikolwa  Abed Bwanika n’abakulembeze abalala mu Masaka kitattana ekitiibwa ky’ekibiina, nga birina okukoma mu bunnambiro.

Yategeezezza nti NEC y’ekibiina erina abakulembeze ab’embavu abasobola okugonjoola ensonga mu kibiina kubanga batambudde nabo era babamanyi by ebasobola okukola noolwekyo ensonga bweziti tezisobola kubalemerera kugonjoola.

Agattako nti NUP ekungaanyizza  abantu ab'enjawulo  okuva mu bibiina ebirala nga noolwekyo tebasaana kwesongamu ngalo olw'ebikolebwa ne bwe baba nga basobezza kubanga bonna balina ekiruubirirwa kimu kyakukyuusa gavumenti.

Agamba Bobi Wine mukulembeze muvumu asobola okukwasaganya obulungi obumulumulu munda mu kibiina noolwekyo tuleme kumukuba wabula tumuwe obuwagizi bwonna obwetaagisa okutereeza ekibiina okukiggya mu mbeera mwekiri.

Mulyanyama asabye Bwanika asirikire ebyama by’ekibiina so ssi k byasanguza nga buli wamu wagenze, alwane abeereko n’emmizi  ku nsonga ezimu ezisobola okugonjoolwa munda mu kibiina.

Amyuuka mmeeya w’e Makindye Bbaale Joseph Bwanika naye avumiridde ekikolwa kya Bwanika n'agamba nti kino ekikolebwa kigendereddwaamu kutta kibiina newankubadde waliwo obutakkaanya naye asobola ensonga okugonjolwa munda ekibiina n'ekigenda mu maaso.