MUNNAKIBIINA kya NUP Sulaiman Kidandala Sserwadda eyaggalirwa mu kkomera mu ggwanga lya South Korea ayimbuddwa n’attottola obulamu obuzibu bw’abaddemu omuli okukola akasanvu nga tewali wadde akatuli akayingiza omusana.
Kidandala amaze ennaku 455 nga musibe mu kkomera lya Cheonan Collection prison e South Korea.
Yakomyewo mu ggwanga ku Lwomukaaga lwa wiiki ewedde n’annyonnyola nti engeri gye yayimbuddwaamu naye yagyewuunyizza kubanga ekibonerezo kye baamusalira kya myaka 4 wabula looya we n’assaamu okujulira ekibonerezo ne kikendeezebwa okudda ku myaka 2.
Yagambye nti okugenda e South Korea yalina pulojekiti ey’okufuna bamusigansimbi okuva mu ggwanga eryo akwatagane nabo bateeke ssente mu kukyusa kasasiro ava mu Kampala omungi bamukolemu ebintu ebirala ebyomugaso omuli ebigimusa , amasannyalaze empapula n’amazzi aganywebwa.
Yalaze ebiwandiiko nga yasooka kugendayo mu 2023 ng’agoba ku pulojekiti eyo mu kibiina kye eky’obwannakyewa mw’abadde akolera emirimu ekiyitibwa Centre for livable Cities.
Bwe yali agenda, yafuna abavubuka n’agenda nabo. Olw’okuba ensi eyo erina ebyokwerinda eby'amaanyi, baamulaba ng’ayingira nabo kyokka bwe yali afuluma yabalekayo era ne bamukwata annyonnyole.
Baamuggalira ennaku mukaaga mu kaduukulu k’oku kisaawe oluvannyuma baamutwala mu kkooti nga buli kimu kiwedde ne bamuggulako omusango gw’okuyambako okuyingiza Bannayuganda mu South Korea bakolereyo mu bumenyi bw’amateeka.
“Omusango nagukkiriza kubanga abasajja baali balina obujulizi bwonna ku kkamera,” Kidandala bw'agamba. Yalaze nti kkampuni z’e Korea tezirina bakozi era okufunayo omulimu omuntu asobola okutereka ssente eziri wakati w’obukadde munaana ne 12 buli mwezi.
Mu kkomera abadde nnamba 1109 era ng’ayambala langi ya bbululu. Babadde baamugaba mu makolero 2 mw’abadde akolera akasanvu nga kumakya apanga masimu, emisana asoma lu South Korea ate olweggulo akola mu kkolero lya bizigo.
Yali ku mirimu, minisita w’e Korea akola ku nsonga z’amawanga ag’ebweru n’aweereza ebbaluwa nga eragira bamuyimbule. Yavuddeyo n’agamba nti yafunye kkampuni ennene z’agenda okukwatagana nazo okuyamba abavubuka okubatwala mu mateeka.