AKAKIIKO k’ebyokulonda olukakasizza ekibiina kya People’s Front for Freedom (PFF) ekya Dr. Kizza Besigye abakikulira ne balaakika okussaawo okuvuganya okw’amaanyi ne balabula NUP, NRM ne FDC obuteeyibaala.
Baalangiridde nti batandikira ku kwetooloola ggwanga na kuwandiisa bammemba.
Loodi mmeeya wa Kampala Erias Lukwago, oku mu bakulembeze ba PFF yategeezezza nti bagenda kukolagana n’ebibiina ebirala okukakasa nti batuuka ku bantu bategeere obwetaavu bw’okukyusa obuyinza n’okulwanyirira eddembe ly’obwenkanya kuba abasibe bangi bali mu makomera okuli ne Dr. Kizza Besigye.
Ku Lwokutaano wiiki ewedde, akakiiko k’ebyokulonda kaalanze ekibiina kino mu katabo k’eggwanga aka Uganda Gazette nga bwe kituukirizza buli mutendera ogwakisabibwa omuli emikono gy’abalonzi okuva mu disitulikiti 97.
Ku Mmande , Lukwago yalangirira nti bagenda kusimbawo abakulembeze ku bifo byonna