Amawulire

Aba bod boda bataayizza omuvuzi w'ekimotoka ky'enkokoto akoze akabenje ne bamukuba bubi nnyo

Aba boda boda, baagobye dereeva w'ekimotoka ekitabula enkokoto agambibwa okukola akabenje ku bitaala okumpi ne Vision Group ku Jinja rd ne bamukuba bubi nnyo.   

Aba bod boda bataayizza omuvuzi w'ekimotoka ky'enkokoto akoze akabenje ne bamukuba bubi nnyo
By: Bukedde Omusunsuzi, Journalists @NewVision

Aba boda boda, baagobye dereeva w'ekimotoka ekitabula enkokoto agambibwa okukola akabenje ku bitaala okumpi ne Vision Group ku Jinja rd ne bamukuba bubi nnyo. 

Yagezezzaako okubuuka mu kimotoka adduke, ne bamugoba ne bamukwatira okumpi n'ettendekero lya Lugogo Vocational  ne bamukuba nga bwe bamukunguzza okumutwala ku poliisi ya Jinja Rd ku Lwokubiri. 

Kigambibwa nti bwe yamaze okutomera owa boda, pikipiki n'eraalira mu kimotoka kino wansi, n'avuga ng'agiwalulira ku ttaka okutuusa lwe yabuseemu adduke ne bamukwata

Tags: