Abatuuze ba Jinja Kaloori mu Katooke A mu diviizoni y'e Nabweru balaajanidde abatwala ebyokwerinda mu kitundu okubayamba ku bumenyi bw'amateeka obususse.
Bategeezezza nti buno businga nnyo mu baana abato okuva ku myaka 9 okutuuka ku 18.
Owen Amanyire Amyuka Atwala Ebyokwerinda Ku Poliisi Ya Katooke Ng’ayogerako Eri Abatuuze Mu Lukung’aana Lw'ebyokwerinda.
Bino babyogeredde mu lukung’aana oluyitiddwa ssentebe w'ekitundu kino, Andrew Kasatiro nga lwetabiddwamu abeebyokwerinda ku kitundu, abakulembeze okwabadde mmeeya w’e Nabweru, bakkansala abatwala ekitundu kino n'ebyo ebyalo ebiriraanyeewo.
Mu lukungaana luno abatuuze bategeezezza nti newankubade nga bafubye okukola buli kisoboka okubumalawo gamba nga okussaawo omukutu gw'ekyalo, mayumbakkumi n'ebirala, bakyalina ababbi mu kitundu ng’ate abasinga baana bato nzaalwa za ku byalo.
Abamu Ku Batuuze Abaabaddeyo Mu Lukiiko.
Andrew Kasatiro mu lukung’aana luno yasabye abatuuze okwongera okukolaganira awamu n’abakulembezze b'ebitundu nga babawa amawulire ku bumenyi bw’amateeka kiyambeko okwongera okubulwanyisa.
Owen Amanyire amyuka atwala ebyokwerinda ku poliisi y’e Katooke, mu lukung’aana luno yasabye abatuuze okwekolamu omulimu kubanga baana baabwe ba kukyalo era n’asaba abatuuze okwongera amataala mu kitundu okuyamba okukendeeza ku bumenyi bwa mateeka mu kitundu.
Bakkansala Abaabadde Mu Lukiiko Luno.
Ate mmeeya w’eggombolola eno, Kasimu Jjumba akakasizza nga bwe bagenda okussa amaanyi ku bantu abasusse okutulugunya ekyalo kino nga baakwongera okukwataganira awamu n'abakulu mu byokwerinda kubanga obumenyi bw’amateeka bususse.
Sinan Kakembo, kkansala atwala ekitundu kino yasabye abazadde okwongera okuyingiza abaana baabwe mu mirimu gy’ebyemikono bakomye okutuulanga awaka kiyambeko okubafuula bbize balee awo okwenyigira mu bikolwa ebikyamu.