Ddereeva abadde adduka ababooda akoonye omuti gw’amasannyalaze n’asuula tulansifooma

May 03, 2022

OMUGOBA w’emmotoka abadde awenyuka obuweewo ng’adduka aba boodabooda ababadde bamugoba olw’okukolobola pipikipiki ya munnaabwe, awonedde watono okufa, bw’akoonye emiti gy’amasannyalaze n’asuula tulansifooma.

Ddereeva abadde adduka ababooda akoonye omuti gw’amasannyalaze n’asuula tulansifooma

Vivien Nakitende
Journalist @Bukedde

Bya Vivien Nakitende

OMUGOBA w’emmotoka abadde awenyuka obuweewo ng’adduka aba boodabooda ababadde bamugoba olw’okukolobola pipikipiki ya munnaabwe, awonedde watono okufa, bw’akoonye emiti gy’amasannyalaze n’asuula tulansifooma.

Akabenje kano kaguddewo ku makya ga Mmande, omugoba w’emmotoka ekika kya Subaru Forester UBE 573H atategeerekese mannya, bw'akoonye emiti gy’amasannyalaze e Lubaga mu zooni ya Wakaliga I, gino gibadde giwaniridde Tulansifoma gyonna ne gimenyeka ne giggwa ne tulansifooma neewanukayo.

Ababaddewo ng’akabenje kano kagwawo bagambye nti, omugoba wa Subaru abadde awenyuka emisinde ng’alinga avuga emmotoka z’empaka, nti wabula wabaddewo ekibinja kya pikipiki bodaboda ekimugoba nga kiteeberezebwa nti bano b’abadde adduka.

Bw’atuuse e Lubaga, awo okumpi n’ekikubo ekyambuka ewa loodimeeya Elias Lukwago, awali amakubo agasalaganamu, akoonye obugulumu obuli mu kkubo,  emmotoka n’ewaba  kwekuyingirira emiti gy’amasannyalaze n'agikoona  ne gigwa ne tulansifooma neewanukayo.

Mmotoka Eyakoze Akabenje

Mmotoka Eyakoze Akabenje

Waayise akaseera kato, ababadde balowooza nti afudde bamulabye yeesowolayo mpola nga talina ky'amaanyi ky’abadde n’adduka n’agenda, aba boodabooda ababadde bamugoba olulabye akabenje balowoozezza nti afudde ne babulawo.

Omu ku bagoba ba boodabooda  atayagadde kwatuukiriza mannya ge agambye nti, ddereeva wa Subaru aliko owa boodabooda gw'akolobodde e Mutundwe, kaabadde kantu katono n'amusaba amusasule 20,000/- agende akatereeze, owa booda kyagaanyi ng’ayagala aweebwe 50,000/-, mu kuteeseganya kuno aba booda baweze bangi , ne batabukira owa Subaru, n’abamu okwagala okubaako bye banyaga ku mmotoka, kwe kusalawo okubaddukako.

Aba UMEME baleese ebimotoka ne bagiggyawo, n’emmotoka ekoze akabenje n’eggyibwawo n’etwalibwa ku poliisi ya Kampala Mukadde, ng’okunoonya ddereeva akoze akabenje bwe kugenda mu maaso.

 

Comments

No Comment


(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});