Makanika asimattuse okufa amasannyalaze
Apr 22, 2024
AMASANNYALAZE gakubye makanika wa fi irigi ne gamukutula essaabiro n’addusibwamu ddwaaliro e Mulago nga tamanyi biri ku nsi.
Ssebwami
AMASANNYALAZE gakubye makanika wa fi irigi ne gamukutula essaabiro n’addusibwa
mu ddwaaliro e Mulago nga tamanyi biri ku nsi.
Ronald Ssebwami omutuuze w’omu Ssebina zzooni e Kawempe ye yakubiddwa amasannyalaze, mu kugwa wansi yagwiiridde omukono ogwa ddyo okukkakkana ng’eggumba likutuse ery’omu kibegabega n’afuna n’ekiwundu ku mutwe.
Ssebwami yagambye alina we yabadde agenze okukola amasannyalaze ng’eno waliwo waya eyabadde tesabikiddwa eyavuddeko obuzibu ng’olwagikutteko ebyazzeeko teyabitegedde yagenze okudda engulu ng’ali mu ddwaaliro e Mulago nga bamugamba nti amasannyalaze gamukubye.
Julius Muwanga omu ku batuuze yagambye nti Ssebwami, Katonda yazzizza bibye kuba yatwaliddwa e Mulago ng’abasinga bamanyi afudde
No Comment