Pulezidenti alagidde abagagga okwamuka obutale bwa Gavt.

May 02, 2024

PULEZIDENTI Museveni alagidde abagagga abeekwata obutale obuzze buzimbibwa Gavumenti nga bagobamu abanaku abaabusookamu babwamuke bunnambiro.

Pulezidenti Museveni n’abamu ku baaweereddwa emidaali e Fort Portal.

Munamawulire
Munamawulire @Bukedde

PULEZIDENTI Museveni alagidde abagagga abeekwata obutale obuzze buzimbibwa Gavumenti nga bagobamu abanaku abaabusookamu babwamuke bunnambiro.
Yasinzidde ku mukolo gw’okukuza olunaku lw’abakozi ogwabadde ku kisaawe
ky’essomero lya St. Leo’s College Kyegobe mu kibuga kye Fort Portal n’alagira ensonga eno ekolweko bunnambiro. Kyaddiridde Musa Okello, ssentebe w’ekibiina kya NOTU ekigatta ebibiina by’abakozi okutegeeza Pulezidenti nti, wadde Gavumenti
efubye okuzimba obutale obuwera 590 okwetoloola eggwanga, kyokka abasuubuzi abanaku abaali bakoleramu tebakyakoleramu.
Kino kivudde ku mpooza n’emisolo emirala egizze gibateekebwako Gavumenti
z’ebitundu egiri waggulu bye batasobola kusasula okusinziira ku nnyingiza yaabwe.
Kino kyewunyisizza Pulezidenti n’alagira nti; “Kino kizibu kinene era ndagidde omumyuka wa Pulezidenti akwatagane ne minisitule y’ebyobusuubuzi bakole ku kizibu kino. Abalyake abanyigiriza abanaku abatalina nsonyi tetuyinza kubagumiikiriza”.
Pulezidenti era yalagidde minisitule y’abakozi okukakasa ng’abakozi bafuna kontulakiti ezibakuumira ku mirimu ez’ekiseera ekiwanvu okusinga okukolera mu mbeera y’okukola nga tebamanyi oba enkeera emirimu banaaba nagyo kuba kibalemesa okukola
obulungi.
“Singa buli maka geenyigira mu mirimu egivaamu ssente obwavu mujja kubusiibula. Abazze bawulira amagezi agabaweebwa NRM okuva mu 1996 nkimanyi bulungi nti obwavu baabugoba. Kati essira tugenda kuliteeka ku ntambula ennyangu, amasannyalaze agatali ga buseere n’okwongera ssente mu bbanka y’eggwanga eya Uganda Development Bank” Museveni bwe yagambye.
Ensonga z’emisolo eginyigiriza abasuubuzi yasuubizza nga bwajja okugyogerako ng’abasisinkanye nga May 7, 2024 mu kisaawe e Kololo.
Ekizibu kya bbeeyi y’amajaani eri wansi, yagambye nti kiva ku nsi ezaali zisinga okugagula nga Egypt ne Pakistan okufuna ebizibu by’entalo. Kyokka era yali yakirengererawo kuba akatale kaago kaweza ttani akakadde kamu n’emitwalo 20 nga gavaamu obuwumbi bwa doola za America 17.
Zino ntono nnyo bwogeraageranya ne ttani obukadde omunaana eziva mu mmwanyi nga muvaamu obuwumbi bwa doola za America 324. Ekirala amajaani okugafunamu olina
okuba ng’olimira wanene nnyo ate ng’abasinga tebalina ttaka eryo. Okello era yaloopedde Pulezidenti ng’abakozi bwe bakolera mu mbeera enzibu ennyo nga emisaala olumu tebafuna ate nga mitono nnyo. Abamu abakolera mu mawanga g’ebweru naddala mu Buwalabu balinga abali mu buddu olw’engeri gye banyigirizibwamu. Kkooti y’ebyobusuubuzi emu eri mu Kampala, yasabye eyongerwe abalamuzi kuba
ababiri abaliwo bakola ku misango 2,000 ate ng’emisango gisukka 5,000.

Ekirala era kkooti yasabye ebeere n’amatabi mu bitundu by’eggwanga ebirala.
Emisaala gy’abakozi naddala abatali ba ssaayansi yasabye gyongezebwe nga Gavumenti
bwe yasuubiza. Ekizibu ky’enguzi nakyo baagala kirwanyisibwe kuba kiremesezza bangi okufuna obwenkanya n’okukola emirimu mu ngeri y’ekibogwe.
Ying. Silver Mugisha ssentebe w’ekibiina ekigatta abakozesa ekya Federation of Uganda Employers, yasabye abakozi n’abakozesa bulijjo okugonjoola obutakkaanya
bwabwe ebweru wa kkooti kuba kitaasa obudde ne ssente. Wadde nga bawagira abakozi
babeere n’omusaala ogutandikirwako ogubasobozesa okweyimirizaawo, bakkiriza nti tegulina kubeera nga gulemesa kkampuni okutambuza emirimu obulungi.
Minisita omubeezi ow’abakozi, Esther Anyakun, yalaze nti bafubye kulaba nga batereeza embeera z’abakozi nga bakola endagaano n’ensi za Buwarabu, Bannayuganda
gye basinga okukolera nga Saudi Arabia ne Oman era mu kiseera kino basobola okulondoolabannansi bonna abaliyo. Abakozi abakoledde emyaka 10
nga bawezezza emyaka 45 basobola bulungi okufuna ebitundu 20 ku ssente zaabwe. Abaliko obulemu bafuna ebitundu 50 ku 100, ekintu ekyaleetebwa ennongoosereza ezaakolebwa mu tteeka erifuga ekittavu ky’abakozi ekya NSSF.

Abantu 58 baaweereddwa emidaali egibasiima olw’obuweereza obulungi okwabadde; eyaliko minisita w’ebyobulambuzi Daudi Migereko, Dr. Ruth Aisha Biyinzika Kasolo, Dr. Barirega Akankwasa akulira NEMA, Tom Okello Obong akulira National Forestry Authority, Samul John Mwandha akulira Wild Life Conservation Education Centre, Maj. Robert Balungi Lubega, Dr. Paul Mwambu, Sunday George Amooti n’abalala.

Help us improve! We're always striving to create great content. Share your thoughts on this article and rate it below.

Comments

No Comment


More News

More News

(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});